Essuula 10 · eddakiika 1 ez’okusoma · eddakiika 1 ez’okuwuliriza
Ekitundu 2 – Omulimu gw’Okuyigiriza Katekisimu n’Okuyigiriza Omuntu Kinnoomu
Nga tumaze okwanika n’okukungubagira ensobi zaffe n’obulagajjavu bwaffe, omulimu gwaffe mu biseera eby’omu maaso gweyolese bulungi mu maaso gaffe. Kikafuuwe, ffe okweyongera kaakano mu bibi bye twatula, mu bulagajjavu nga bwe twali edda! Kale nga ndese ebyo, kaakano ŋŋenda kubakubiriza okutuukiriza n’obwesigwa omulimu omukulu gwe mwakkiriza okukola, kwe kugamba, okuyigiriza katekisimu n’okulagirira buli muntu kinnoomu mu bitundu byammwe oba mu bibiina byammwe, buli akkiriza okuyigirizibwa.
Ekisooka, nja kubateekerawo ensonga ezimu ezibakubiriza okukola omulimu guno.
Eky’okubiri, nja kuddamu ebiwakanya ebimu ebiyinza okuleetebwa ku mulimu guno. N’ekisembayo, nja kubawa ebiragiro ebimu eby’engeri y’okukolamu omulimu guno.