Essuula 2 · eddakiika 1 ez’okusoma
Ebigambo eby’Okwanjula bya Keith Price
Mazima ddala tewali kya kutendereza kitabo ekisinga okukakasibwa nti ebigambo byakyo byagezesebwa mu bulamu obwa buli lunaku ne bisangibwa nga bya mazima. Okuba nti emisingi egyanjuddwa wano gyayita mu kugezesebwa okwo, ekyo kyokka kimala okugiwagira.
Bw’onoosoma empapula zino, ojja kuwulira omutima gw’omusumba.
Newankubadde nga musajja wa ssaayansi, omusajja wa Katonda ono talina budde bwa kwekweka mu bulowoozi obw’ebbali obutakwata ku bulamu bwa buli lunaku. Olw’okuba naye yennyini yayita mu muliro gw’ebizibu eby’obulamu, ategeera abalala kye bawulira mu biseera eby’okutawaana.
Gareth Evans yakakasa emisingi gino, si mu mulimu gw’obusumba e Victoria, mu British Columbia gwokka, wabula ne mu bifo ebirala eby’enjawulo, nga Mexico, Afirika, Bulaaya, ne Australia, gye yayitibwanga okwanjula ebiyigirizo bino eri ebibiina by’ekkanisa ez’enjawulo n’abakulembeze Abakristaayo.
Olw’okuba assa ekitiibwa kya waggulu ku bwa Katonda obuli mu Byawandiikibwa, mw’aggya ebiyigirizo bino, nkakasa nti bijja kusigala nga bya muwendo okutuusa lwe tulituukirizibwa, ne tuba nga tetukyetaaga kutandikawo kutabaganya nkolagana ezaayonooneka.
Keith Price Victoria, British Columbia Marisi, 1996