Essuula 1 · eddakiika 1 ez’okusoma
Ebikwata ku Muwandiisi
Gareth ne mukyala we Anne bombi baazaalibwa era ne bakulira mu Wales. Baafumbiriganwa mu 1961, ng’amaze okufuna diguli ye eya Bachelor of Science n’ekitiibwa mu Fizikisi, awamu ne Dipuloma mu by’Obuyigirize okuva mu Yunivasite y’e Wales. Mu 1975 baasengukira mu Kanada, Gareth n’ayeeyongera mu mulimu gwe gwe yali yeerondedde ogw’okusomesa Fizikisi mu masomero ga siniya. Mu 1979 n’ayitibwa okuba omusumba w’ekkanisa e Kitchener, mu Ontario, ng’akolera wamu ne Christian and Missionary Alliance.
Nga wayiseewo emyaka ena, n’afuna okuyitibwa okugenda e Victoria, mu British Columbia, gye yaweererereza ng’omusumba okumala emyaka munaana, era gye bakyabeera ne kaakano. Mu 1990 Gareth yayitibwa okuweereza ng’omusumba (chaplain) ku kyombo kya Mercy Ship, M/V Anastasis, ekyakolanga wakati wa Bulaaya ne Afirika ey’Ebugwanjuba. Eyo, ye ne Anne baaweerezanga abakozi b’ekyombo, era ne bafuna emikisa mingi egy’okwogera mu kkanisa, mu nkuŋŋaana z’abasumba, ne mu nkuŋŋaana z’ababaka b’enjiri.
Bukyava ku kyombo mu 1994, Gareth atambudde nnyo, ng’ayigiriza mu masomero agatendeka abayigirizwa ne mu nkuŋŋaana ez’enjawulo. Gareth ne Anne balina abaana abawala basatu n’abazzukulu mwenda.