Essuula 18 · eddakiika 5 ez’okusoma · eddakiika 7 ez’okuwuliriza
Ababuulizi beetaaga okusabirwa abantu
Singa Abakristaayo abamu abazze beemulugunya ku baweereza baabwe baali boogedde era ne bakola bitono mu maaso g’abantu, ne beewaayo n’amaanyi gaabwe gonna okukaabirira Katonda ku lw’abaweereza baabwe—ne babeera, ng’okwogera, nga basituse ne balumba eggulu n’okusaba kwabwe okw’obwetoowaze, okw’ebbugumu era okutakoma ku lwabwe—bandibadde mu kkubo erisingako ennyo ery’okutuuka ku buwanguzi.—Jonathan Edwards
MU NGERI emu oba endala, empisa ey’okusabira omubuulizi mu ngeri ey’enjawulo evuddewo oba etwalibwa ng’etalina mugaso. Oluusi tuwulidde empisa eno ng’evunaanibwa nti enyooma obuweereza, kubanga kuba kulangirira mu lwatu okw’abo abagikola nti obuweereza tebulina busobozi. Oboolyawo enyiiza amalala ag’okusoma n’ag’okwemala, era ebyo bigwanidde okunyiizibwa n’okunenyezebwa mu buweereza obwerabidde obuvunaanyizibwa bwabwo ennyo ne bukkiriza ebintu ebyo okubeerawo.
Eri omubuulizi, okusaba si mulimu gwokka ogw’ekifo kye, wadde enkizo, wabula kyetaagisa ddala. Empewo teyetaagisa mu mawuggwe okusinga okusaba bwe kwetaagisa eri omubuulizi. Kyetaagisa ddala omubuulizi okusaba. Kyetaagisa ddala omubuulizi okusabirwa. Ebigambo bino ebibiri bigattiddwa mu bufumbo obutagwanidde kumanya kugattululwa: omubuulizi alina okusaba; omubuulizi alina okusabirwa. Kijja kwetaagisa okusaba kwonna kw’asobola okukola, n’okusaba kwonna kw’asobola okufuna okumusabirwa, okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’entiisa n’okufuna obuwanguzi obusinga obunene era obusinga obw’amazima mu mulimu gwe omukulu. Omubuulizi ow’amazima, oluvannyuma lw’okukuza mu ye yennyini omwoyo n’ekikolwa eky’okusaba mu ngeri yaabyo esingayo amaanyi, ayaayaanira nnyo ennyo okusaba kw’abantu ba Katonda.
Omuntu gy’akoma okuba omutukuvu, gy’akoma okutwala okusaba nga kwa muwendo; gy’akoma okulaba obulungi nti Katonda yeewa abo abasaba, era nti ekigera Katonda kye yeebikkulira emmeeme kye kigera ky’okwegomba n’okusaba okutakoowa emmeeme kw’ekola okunoonya Katonda. Obulokozi tebuyingira mu mutima ogutasaba. Omwoyo Omutukuvu tabeera mu mwoyo ogutasaba. Okubuulira tekuzimba mmeeme etasaba. Kristo tamanyi Bakristaayo abatasaba. Enjiri tesobola kusaasaanyizibwa mubuulizi atasaba. Ebirabo, ebitone, okusoma, obwogezi obulungi, n’okuyitibwa kwa Katonda, tebisobola kukendeeza ku bwetaavu bw’okusaba, wabula byongera bwongezi obwetaavu omubuulizi okusaba n’okusabirwa. Amaaso g’omubuulizi gye gakoma okuzibuka okulaba embeera y’omulimu gwe, obuvunaanyizibwa bwagwo, n’ebizibu ebirimu, gy’ajja okukoma okulaba, era bw’aba nga mubuulizi wa mazima gy’ajja okukoma okuwulira, obwetaavu bw’okusaba; si bwetaavu obweyongera bwokka obw’okusaba ye yennyini, wabula n’obw’okukoowoola abalala okumuyamba n’okusaba kwabwe.
Pawulo kyakulabirako ky’ekyo. Singa waliwo omuntu yenna eyali asobola okusaasaanya enjiri olw’amaanyi ge ye, olw’amagezi g’obwongo, olw’okusoma, olw’ekisa ky’alina ku bubwe, olw’obuvunaanyizibwa bw’obutume Katonda bwe yamuwa, n’olw’okuyitibwa kwa Katonda okw’enjawulo, omuntu oyo yali Pawulo. Nti omubuulizi alina okuba omuntu eyeewaayo eri okusaba, Pawulo kyakulabirako ekyeyoleka. Nti omubuulizi ow’amazima ow’engeri y’abatume alina okuba n’okusaba kw’abantu abalala abalungi okuwa obuweereza bwe obuwanguzi bwabwo bwonna obugwanidde, Pawulo kyakulabirako ekisinga byonna. Asaba, ayaayaana, yeegayirira n’omwoyo ogwaka obuyambi bw’abatukuvu ba Katonda bonna. Yali amanyi nti mu by’omwoyo, nga ne mu bintu ebirala, mu kwegatta mwe muli amaanyi; nti okukuŋŋaanya n’okugatta wamu okukkiriza, okwegomba n’okusaba kwongera ku bungi bw’amaanyi ag’omwoyo okutuusa lwe gafuuka amayitirivu era agatasobola kuziyizibwa. Ebitundu by’okusaba bwe bigattibwa wamu, ng’amatondo g’amazzi, bikola ennyanja etasobola kuziyizibwa. Bw’atyo Pawulo, olw’okutegeera kwe okulambulukufu era okujjuvu ku ngeri amaanyi ag’omwoyo gye gakolamu, yamalirira okufuula obuweereza bwe obw’amaanyi, obw’emirembe gyonna, era obutasobola kuziyizibwa nga ennyanja, ng’akuŋŋaanya ebitundu byonna eby’okusaba ebisaasaanidde n’abiyiwa ku buweereza bwe. Ddala ekyama ky’obukulu bwa Pawulo mu kutegana kwe n’ebibala bye, n’akabonero ke yateeka ku Kkanisa ne ku nsi, tekiyinza kusangibwa mu kino nti yasobola okukuŋŋaanya ku ye yennyini ne ku buweereza bwe okusaba kungi okusinga abalala? Eri baganda be ab’omu Ruumi yawandiika nti: “Kaakano mbakuutira abooluganda, mu Mukama waffe Yesu Kristo ne mu kwagala kw’Omwoyo, okufubiranga awamu nange, nga munsabira eri Katonda.” Eri Abaefeso agamba nti: “Nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda. Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri.” Eri Abakkolosaayi aggumiza nti: “Nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa. Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako.” Eri Abasessaloniika agamba mu bufunze era n’amaanyi nti: “Abooluganda, naffe, mutusabirenga.” Pawulo akoowoola Ekkanisa ey’e Kkolinso okumuyamba nti: “Tukolere wamu nga mutusabira.” Kino kyali kitundu ku mulimu gwabwe. Baali ba kuwaayo omukono ogw’okuyamba okw’okusaba. Mu kiragiro ekirala era eky’enkomerero eri Ekkanisa ey’Abasessaloniika ku bukulu n’obwetaavu bw’okusaba kwabwe, agamba nti: “Abooluganda, eky’enkomerero, mutusabirenga, ekigambo kya Mukama kibune mangu era Mukama agulumizibwenga, nga bw’agulumizibwa mu mmwe, tulyoke tununulibwe okuva mu bakozi b’ebibi.” Akkaatiriza Abafiripi nti okugezesebwa kwe kwonna n’okuziyizibwa kwe bisobola okufuuka eby’okuyamba okubunya enjiri olw’okumusabira kwabwe okulina amaanyi. Firemooni yalina okumutegekera we yandisula, kubanga olw’okusaba kwa Firemooni, Pawulo yali wa kufuuka mugenyi we.
Endowooza ya Pawulo ku nsonga eno eraga obwetoowaze bwe n’okutegeera kwe okw’ebuziba ku maanyi ag’omwoyo agasaasaanya enjiri. Okusinga ekyo, eyigiriza essomo ery’ebiseera byonna, nti oba nga Pawulo yeesigama nnyo bw’atyo ku kusaba kw’abatukuvu ba Katonda okuwa obuweereza bwe obuwanguzi, obwetaavu bwe bunene bwenkana wa nti okusaba kw’abatukuvu ba Katonda kukuŋŋaanyizibwe ku buweereza obw’ennaku zino!
Pawulo teyawulira nti okwegayirira kuno okw’amaanyi okusabirwa kwandikkakkanyizza ekitiibwa kye, kwandikendeezezza ku buyinza bwe, oba kwandinyoomesezza okutya Katonda kwe. Ate singa kyali bwe kityo? Ekitiibwa kigende, obuyinza bwe buzikirizibwe, erinnya lye lyonoonebwe—yalina okufuna okusaba kwabwe. Newaakubadde yali ayitiddwa, ng’atumiddwa, era nga ye mukulu mu Batume, ebyo byonna bye yalina byali tebimala awatali kusaba kw’abantu be. Yawandiika ebbaluwa buli wamu, ng’abakubiriza okumusabira. Osabira omubuulizi wo? Omusabira mu kyama? Okusaba okw’olwatu kugasa kitono okuggyako nga kuzimbiddwa ku kusaba okw’ekyama oba nga kugobererwa okusaba okw’ekyama. Abo abasaba bali eri omubuulizi nga Alooni ne Kuli bwe baali eri Musa. Bawanirira emikono gye era be basalawo enkomerero y’olutalo olubuubuuka ennyo okubeetooloola.
Okwegayirira n’ekigendererwa ky’abatume kyali kya kuleetera Ekkanisa okusaba. Tebaabuusa maaso kisa eky’okugaba n’essanyu. Baali bamanyi ekifo emirimu gy’eddiini n’okukola bye birina mu bulamu obw’omwoyo; naye tewali na kimu ku byo, wadde byonna awamu, mu ndaba y’abatume oba mu bunyiikivu bwabwe, ebyali biyinza okugeraageranyizibwa n’akatono n’okusaba mu bwetaavu ne mu bukulu. Okwegayirira okusinga obutukuvu n’obunyiikivu kwakozesebwa, okubuulirira okusinga ebbugumu, n’ebigambo ebisinga okutwaliramu ensonga zonna n’okuzuukusa byayogerwa, okunyweza obuvunaanyizibwa n’obwetaavu bw’okusaba obusinga byonna obukulu.
“Muleetere abatukuvu buli wamu okusaba” gwe mugugu gw’okufuba kw’abatume era lye ddoboozi ekkulu ery’obuwanguzi bw’abatume. Yesu Kristo yali afubye okukola kino mu nnaku z’obuweereza bwe ku nsi. Bwe yakwatibwako okusaasira okutaliiko kkomo olw’ennimiro z’ensi ezengedde ezaali zoonooneka olw’obutaba na bakozi, n’ayimirizaamu okusaba kwe ye—agezaako okuzuukusa okuwulira okwazibe okw’abayigirizwa be eri omulimu gw’okusaba, ng’abalagira nti, “Musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye.” “Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo.”
Essuula 18 ewedde
Ababuulizi beetaaga okusabirwa abantu