Essuula 1 · eddakiika 6 ez’okusoma · eddakiika 8 ez’okuwuliriza
Ebisuubizo bya Katonda
Omuwendo gw’Ebisuubizo
Ebisuubizo bya Katonda eri omukkiriza kirombe ky’obugagga obutaggwaawo. Alina essanyu bw’aba amanyi okunoonya emisuwa gyakyo egyekusifu, n’okwegaggawaza n’eby’obugagga byakyo ebikwekeddwa. Bye ggwanika ly’ebyokulwanyisa, omuli eby’okulumba n’eby’okwekuuma ebya buli ngeri. Alina omukisa oyo ayize okuyingira mu ggwanika eryo ettukuvu, n’ayambala eky’omu kifuba n’enkuufiira, n’akwata effumu n’ekitala. Era ddwaliro, omukkiriza mw’asanga eddagala lya buli ngeri erizzaamu amaanyi, n’ebiwoomerero eby’omukisa; temubulamu kizigo kya buli kiwundu, wadde ekyokunywa ekizzaamu amaanyi oyo azirika, wadde eddagala lya buli ndwadde. Alina omukisa oyo amanyi obulungi eddagala ery’omu ggulu, era amanyi okukozesa amaanyi agawonya ag’ebisuubizo bya Katonda. Ebisuubizo eri Omukristaayo tterekero ly’emmere. Biringa ebyagi Yusufu bye yazimba mu Misiri, oba ekibya ekya zaabu emmaanu mwe yaterekebwa. Alina omukisa oyo asobola okutoola emigaati etaano egya sayiri n’ebyennyanja eby’ekisuubizo, n’abimenyamenya okutuusa obwetaavu bwe enkumi ettaano lwe bumalibwawo bwonna, era n’asobola okukuŋŋaanya ebisero ebijjudde obutundutundu. Ebisuubizo ye Magna Charta y’eddembe ly’Omukristaayo; bye biwandiiko eby’obwannannyini ku butaka bwe obw’omu ggulu. Alina essanyu oyo amanyi okubisoma obulungi, n’abiyita byonna bibye. Weewaawo, bye kisenge omuterekebwa eby’obugagga by’engule y’Omukristaayo. Eby’obwakabaka ebyo bibye: leero abyewuunya mu kyama, naye alibyambala mu lwatu mu Lusuku lwa Katonda. Yaweebwa dda, nga kabaka, ekisumuluzo ekya ffeeza ekiggula ekisenge ekigumu; ne kaakano ayinza okukwata omuggo gw’obwakabaka, okwambala engule, n’okwebikka ku bibegabega olugoye olw’obwakabaka. Woowe, nga bya bugagga obutayogerekeka ebisuubizo bya Katonda waffe omwesigwa, akuuma endagaano ye! Singa twalina olulimi lw’omwogezi asinga obukugu, era singa olulimi olwo lwakomebwako eryanda eryaka eriggiddwa ku kyoto, era terwandisobodde kwogera kimu kya kkumi eky’ettendo ly’ebisuubizo bya Katonda eby’omuwendo ebikulu ennyo. Nedda, n’abo abaayingira mu kiwummulo, ennimi zaabwe nga zaayiga okwogera ebigambo ebya waggulu eby’essanyu nga bakerubi ne basseraafi, nabo tebayinza kwogera ku bugulumivu n’okukka wansi, obuwanvu n’obugazi bw’emikisa egiri mu Kristo egitageraageraganyizika, egyaterekebwa mu ggwanika lya Katonda—ebisuubizo by’endagaano y’ekisa kye.
Katonda Yagamba Nti
Abatume, nga Mukama waabwe, baali beetegefu bulijjo okujuliza Ebyawandiikibwa. Nga bwe baali bantu abaaluŋŋamizibwa, bandisobodde bulijjo okukozesa ebigambo ebiggya, naye baasinga kwagala (era mu kino batuteerawo ekyokulabirako) okujuliza ebigambo eby’edda ebyateekebwako dda envumbo ey’obuyinza bwa Katonda—“Katonda yagamba nti.” Naffe tukole bwe tutyo; kubanga ebigambo by’abaweereza ne bwe biba biwoomu, ebigambo bya Katonda bisinga obuwoomi; era ebirowoozo ebiggya ne bwe biba n’obulungi obw’obuggya, ebigambo bya Katonda eby’edda biriko eddoboozi, n’obuzito, n’omuwendo gw’ensimbi enkadde ez’omuwendo, era tebiriggwaako ku lunaku lwe tuliba twetaaga okubikozesa. “Katonda yagamba nti,” tekigoba kubuusabuusa na kutya kwokka, naye era kiriisa buli kirungi ekisa kye kyatussaamu. Omutume bw’aba ayagala tumativu, agamba nti, “bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti;” ate bw’aba ayagala tube bavumu era abazira, akyogera n’amaanyi bw’ati: “Katonda yagamba nti, Sirikuleka era sirikwabulira n’akatono.” Kyetuva ffe twogera n’obuvumu nti, “Mukama ye mubeezi wange, siityenga, omuntu ayinza kunkola ki?” Omutume Pawulo bw’aba ayagala okuliisa okukkiriza, akikola ng’atuliisa okuva mu Byawandiikibwa n’ebyokulabirako bya Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, ne Musa, ne Gidyoni, ne Baraki, ne Yefusa. Omutume omulala bw’aba ayagala okutukkakkanya n’essomo ly’okugumiikiriza, agamba nti, “Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama;” oba bwe kiba nti okusaba kwaffe ky’ayagala okuzuukusa, agamba nti, “Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya.” “Katonda yagamba nti,” mmere ezzaamu amaanyi buli kirungi eky’ekisa, era kikonde ekitta buli kibi. Wano olina emmere y’ekirungi n’obutwa bw’ekibi. Kale munoonyenga mu Byawandiikibwa, kubanga bwe mutyo bwe muligenda nga mukula, nga muli balamu bulungi, ba maanyi, era nga muli banywevu mu bulamu bwa Katonda.
Naye ng’oggyeeko okubinoonyereza nga tubisoma, n’okubiterekera mu kujjukira, tusaanidde okubigezesa mu bye tuyitamu; era buli lwe kirabika nti ekisuubizo kya mazima, tukiteekeko akabonero, tumanye nti naffe tusobola okwogera nga omu ow’edda bwe yayogera nti, “Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.” “Lindirira Mukama,” Isaaya bwe yayogera, n’alyoka ayongerako nti, “Weewaawo, lindirira Mukama,” ng’alinga bye yayitamu bye byamuleetera okuddamu eddoboozi lya Katonda eri abaali bamuwuliriza. Gezesa ekisuubizo; twala ssente za Katonda ez’empapula ku bbanka, olabe oba nga zisasulwa. Kwata omuggo gw’okusitula gw’alagidde okusitula ebizibu byo, ogezese oba nga gulina amaanyi ddala. Suula omuti guno ogwa Katonda mu mazzi agakaawa ag’e Mala yo, oyige bwe gunaagawoomya. Twala omunnyo guno ogusuule mu mazzi amakyafu, olabe oba nga tegaafuuke malungi, nga amazzi ag’edda bwe gaafuulibwa nnabbi Erisa. “Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi! ... kubanga abamutya tebaajulenga.”
Ebisuubizo Ebitaggwaawo
Ebisuubizo bya Katonda tebiggwaawo nga bimaze okutuukirizibwa; kubanga bwe bimala okutuukirira, bisigala nga birungi nga bwe byali edda, era tuyinza okulindirira okutuukirira kwabyo omulundi ogwokubiri. Ebisuubizo by’abantu, ne mu bulungi bwabyo obusingayo, biringa ekidiba ekikuuma amazzi ag’ekiseera obuseera; naye ebisuubizo bya Katonda biringa ensulo etakalira, ebooga bulijjo; n’olwekyo oyinza okubisenamu ekigero kyonna kye birabika nga birina, ne bisigala nga bijjudde nga bulijjo.
Okufuna Ebisuubizo
Oluusi Katonda awa abantu be ebisuubizo ebiggya “olw’okukkiriza,” ng’okugezesebwa kunaatera okubajjira. Bwe kyali ku Eriya. Katonda yamugamba nti, “Vva wano ogende ebuvanjuba weekweke ku kagga Kerisi; ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.” Kino kyali ku ntandikwa y’enjala. Eriya n’abeera eyo, Katonda n’atuukiriza ekisuubizo, kubanga Eriya yali akifunye olw’okukkiriza. Ng’akola olw’okukkiriza, era ng’akyesigama ku Katonda, abeera ku Kerisi; era olw’okukkiriza okwo, Katonda amuwa ekisuubizo ekiggya, “Situkiramu ogende e Zalefaasi—Ndagidde nnamwandu ali eyo okukuwanga emmere.” Okukkiriza okwafuna ekisuubizo ekyasooka kwaweebwa ekitiibwa eky’okufuna eky’okubiri. Bwe kiri ne gye tuli. Bwe tuba twafuna ekisuubizo ekitono, ne kituukirira gye tuli okutuusa kaakano; bwe tuba twakiriirako, ne tukifuula omukonda era ekiwanirira emmeeme zaffe, mazima Katonda alituwa ekirala ekisingako obukulu. Bwe tutyo, nga tuva ku kisuubizo okudda ku kirala, tulisanga ng’ebisuubizo madaala g’eddaala Yakobo lye yalaba, entikko yaalyo nga etuuka mu ggulu. Buusabuusa era teweesiga kisuubizo ky’olina, oleme kusuubira Katonda kwongera kubikkulirwa kwe eri emmeeme yo. Tya era tokkiriza kisuubizo ekyateekebwa ku mutima gwo jjo, era tolifuna kiggya enkya. Naye kola mu kukkiriza okwangu ku ekyo Katonda ky’akuwadde dda, era oligenda ng’oyongera amaanyi, ng’ofuna ekisa ku kisa, n’ekisuubizo ku kisuubizo. Omwoyo wa Katonda alikuba akaama mu mmeeme yo ekisuubizo ekirikukwatako n’amaanyi ng’agaliwo singa malayika ava mu ggulu ye yakikugambye, era “olw’okukkiriza” olifuna ebisuubizo ebyali tebinnaba kutuukika gy’oli.
Ebisuubizo n’Ebiragiro
Bw’oba oyagala ebisuubizo bituukirire gy’oli, weekuume okugondera ekiragiro ekigattiddwa ku kisuubizo. Goberera ekyokulabirako kya Musa. Musa yamanya nti waaliwo ekisuubizo ekyaweebwa abantu ba Isirayiri, nti baliba mukisa eri ensi; naye okukifuna kyali kimugwanira okwefiiriza, kyeyava “yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu.” Ekisuubizo bwe kikulagira okwefiiriza, tosobola kukifuna nga tokikoze. Kikole, era olifuna okutuukirira kwakyo. Oba kiteeke nti ekisuubizo kyetaaga obuvumu—beera muvumu. Oba ekisuubizo kyetaaga obuwulize—beera muwulize. Jjukira Lakabu bwe yawanika akawero akamyufu mu ddirisa lye, kubanga ako ke kaali akabonero akagezesa okukkiriza kwe. Naawe kola bw’otyo. Kyonna Kristo ky’akugambye, kikole. Tolagajjalira kiragiro na kimu, ne bwe kirabika nga kitono. Kola Mukama wo ky’akugamba, nga tobuuza bibuuzo, kubanga omuddu abuusabuusa ekiragiro kya mukama we muddu mubi. Tewali kubuusabuusa nti naawe, nga Omulaawe Omwesiyopya, olitambula olugendo lwo ng’ojjudde essanyu bw’olimala okugonda. Oba ekisuubizo kyaweebwa abo aboogera “ebirungi” ku nsi eyo? Jjukira nti Kalebu ne Yoswa be bokka ababiri abaafuna ekisuubizo, kubanga bo bokka be baawa Katonda ekitiibwa. Naawe bw’otyo wa Katonda ekitiibwa. Ensi eduulira ewulire obujulirwa bwo obutakyukakyuka nti Katonda wo mulungi era wa mazima. Okusinda kwo n’okwemulugunya kwo bireme kuleetera bantu kuteebereza nti olina mukama mukakanyavu, era nti abaddu be tebalina ssanyu, wadde okubudaabudibwa, wadde ebisanyusa. Kimanyibwe nti oyo gw’oweereza si mukozesa wa mu Misiri; ekikoligo kye kyangu; okumuweereza ssanyu, n’empeera ye tenyumizika. “Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa.” Weegendereze okugondera ebiragiro, era Katonda alikutuukiririza ebisuubizo.