Okunoonya Katonda
Eddoboozi Eryogera

Essuula 8 · eddakiika 10 ez’okusoma · eddakiika 13 ez’okuwuliriza

Eddoboozi Eryogera

Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda.—Yokaana 1:1

Omuntu owa bulijjo ow’amagezi, atayigirizibwangako mazima ga Bukristaayo, bw’asanga ekyawandiikibwa kino, yandiyinza okusalawo nti Yokaana yali ayagala kuyigiriza nti mu butonde bwa Katonda mulimu okwogera, okutegeeza abalala ebirowoozo bye. Era yandibadde mutuufu. Ekigambo kye kkubo ebirowoozo mwe biyita okwolesebwa, era okutuuma Omwana ow’emirembe n’emirembe erinnya lino kitutuusa ku kukkiriza nti okweyoleka kuli mu butonde bw’Obwakatonda, nti Katonda bulijjo afuba okwetegeeza eri ebitonde bye. Bayibuli yonna ewagira ekirowoozo kino. Katonda ayogera. Si nti Katonda yayogera, wabula Katonda ayogera. Mu butonde bwe ayogera bulijjo awatali kusirika. Ajjuza ensi n’Eddoboozi lye eryogera.

Erimu ku mazima amanene ge tulina okukwatagana nago lye Ddoboozi lya Katonda mu nsi ye. Ennyinnyonnyola esinga obumpi, era yokka ematiza, ku ngeri ensi gye yatondebwamu y’eno: “Yayogera bwogezi n’etondebwa.” Ensonga y’amateeka g’obutonde lye Ddoboozi lya Katonda eddamu eribeera munda mu bitonde bye. Era ekigambo kino ekya Katonda ekyaleeta ensi zonna tekiyinza kutegeerwa nti kitegeeza Bayibuli, kubanga si kigambo kyawandiikibwa oba ekyakubibwa mu kyapa n’akatono, wabula kwe kwolesebwa kw’okwagala kwa Katonda okwayogerwa ne kuteekebwa mu nzimba y’ebintu byonna. Ekigambo kino ekya Katonda gwe mukka gwa Katonda ogujjuza ensi n’obusobozi obulamu. Eddoboozi lya Katonda ge maanyi agasinga obunene mu butonde, mazima ddala ge maanyi gokka mu butonde, kubanga amaanyi gonna gali wano lwa kuba nti Ekigambo ekijjudde amaanyi kyogerwa.

Bayibuli kye Kigambo kya Katonda ekyawandiikibwa, era olw’okuba kyawandiikibwa kiziyizibwa era kikoma ku bwetaavu bwa bwino, olupapula n’eddiba. Naye Eddoboozi lya Katonda liramu era lya ddembe nga Katonda omufuzi bw’ali ow’eddembe. “Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu.” Obulamu buli mu bigambo ebyogerwa. Ekigambo kya Katonda mu Bayibuli kiyinza okuba n’amaanyi lwa kuba nti kikwatagana n’ekigambo kya Katonda mu bwengula. Eddoboozi eriwo kaakano lye lifuula Ekigambo ekyawandiikibwa okuba n’amaanyi gonna. Bwe kitandibadde bwe kityo, kyandisigadde nga kyebase, nga kisibiddwa munda mu ddiba ly’ekitabo.

Tulaba ebintu mu ngeri eya wansi era ey’edda ennyo bwe tulowooza nti Katonda bwe yali atonda yakwatanga ku bintu n’emikono, ng’abibumba, ng’abigatta era ng’azimba ng’omubazzi. Bayibuli eyigiriza mu ngeri endala: “Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa; n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.... Kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa, n’alagira n’eyimirira nga nywevu.” “Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda.” Era tulina okujjukira nti wano Katonda tayogera ku Kigambo kye ekyawandiikibwa, wabula ku Ddoboozi lye eryogera. Kye kitegeezebwa lye Ddoboozi lye erijjuza ensi, Eddoboozi eryasooka Bayibuli ebyasa ebitabalika, Eddoboozi eritasirikanga okuva ku ntandikwa y’okutonda, naye erikyavuga wonna mu bwengula bwonna okutuuka ku nsalo zaabwo ezisinga okuba ewala.

Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Ku lubereberye yayogera eri ekitaaliwo, ne kifuuka ekintu. Akavuyo ne kakiwulira ne kafuuka entegeka, ekizikiza ne kikiwulira ne kifuuka ekitangaala. “Awo Katonda n’ayogera—Ne kiba bwe kityo.” Ebigambo bino ebibiri ebitambulira awamu, ng’ensonga n’ekiva mu yo, biddiŋŋanwa mu byafaayo byonna eby’okutonda mu Lubereberye. Yayogera kye kinnyonnyola bwe kityo. Bwe kityo ye yayogera eteekeddwa mu kiseera ekiriwo ekitakoma.

Nti Katonda ali wano era nti ayogera — amazima gano ge gali emabega w’amazima gonna amalala aga Bayibuli; awatali go tewandibaddewo kubikkulirwa n’akatono. Katonda teyawandiika kitabo n’akiweereza ng’akiyisa mu mubaka okusomebwa ewala amagezi agatalina buyambi. Yayogera Ekitabo era abeera mu bigambo bye yayogera, ng’ayogera ebigambo bye bulijjo era ng’aleetera amaanyi gaabyo okusigalawo okuyita mu myaka. Katonda yassa omukka mu bbumba ne lifuuka omuntu; assa omukka ku bantu ne bafuuka ebbumba. Ekigambo Katonda kye yayogera omuntu bwe yagwa, kye yasalirawo okufa kwa buli muntu, kyali nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.” era teyeetaaga kwogera kigambo kirala kyonna. Olugendo olw’ennaku olw’abantu ku nsi yonna okuva ku kuzaalibwa okutuuka ku ntaana bwe bukakafu nti Ekigambo kye ekyasooka kyali kimala.

Tetuwadde kufaayo kumala ku kigambo ekyo eky’obuziba mu Kitabo kya Yokaana, “Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu.” Ne bwe tukyusakyusa obubonero bw’okuwumuza nga bwe twagala, amazima gakyali awo: Ekigambo kya Katonda kikwata ku mitima gy’abantu bonna ng’ekitangaala mu mmeeme. Mu mitima gy’abantu bonna ekitangaala kyaka, Ekigambo kivuga, era tewali kubidduka. Ekintu ng’ekyo kyandibadde bwe kityo mu butonde bwakyo singa Katonda mulamu era ali mu nsi ye. Era Yokaana agamba nti bwe kiri. N’abo abatawulirangako ku Bayibuli babuuliddwa mu ngeri etegeerekeka ekimala okuggyawo buli kyakwekwasa mu mitima gyabwe emirembe gyonna. “Ekyo kiraga ng’Amateeka gawandiikibbwa mu mitima gyabwe, era kikakasa munda mu birowoozo byabwe, ng’emitima gyabwe giribasaliriza omusango oba okubejjeereza okusinziira ku ekyo kye bamanyi.” “Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo n’obwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu by’obutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.”

Eddoboozi lino lya Katonda eribunye wonna Abaebbulaniya ab’edda baalituumanga Amagezi, era nga kigambibwa nti livuga era linoonya wonna ku nsi, nga linoonya okuddibwamu okuva mu baana b’abantu. Essuula ey’omunaana ey’Ekitabo ky’Engero etandika bw’eti: “Amagezi tegakoowoolera waggulu, n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?” Omuwandiisi olwo n’alaga amagezi ng’omukazi omulungi ayimiridde ku “ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo, mu masaŋŋanzira.” Ayimusa eddoboozi lye okuva mu buli nsonda waleme kubaawo muntu n’omu atalaba kuliwulira. “Mmwe abantu, mmwe b’empita; nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.” Olwo n’egayirira abatalina magezi n’abasirusiru okutega amatu eri ebigambo bye. Amagezi gano aga Katonda geegayirira okuddibwamu okw’omwoyo, okuddibwamu kwe gabadde ganoonya bulijjo naye nga gatera obutakufuna. Eky’ennaku kiri nti obulamu bwaffe obw’emirembe n’emirembe bwesigamye ku kuwulira kwaffe, so nga ffe twatendeka amatu gaffe obutawulira.

Eddoboozi lino eribunye wonna bulijjo libaddenga livuga, era emirundi mingi libadde litawaanya abantu ne bwe babadde tebategeera nsibuko ya kutya kwabwe. Kiyinza okuba nti Eddoboozi lino, eritonnya ng’olufu olulamu ku mitima gy’abantu, ye nsonga etazuulibwanga ey’omutima ogutateredde ogulumiriza, n’okwegomba obulamu obutaggwaawo okwatuddwa obukadde n’obukadde bw’abantu okuva ebyafaayo lwe byatandika okuwandiikibwa? Tetwetaaga kutya kukyolekera. Eddoboozi eryogera kya mazima. Abantu engeri gye balyanukudde, buli alaba ayinza okukyetegereza.

Katonda bwe yayogera okuva mu ggulu eri Mukama waffe, abantu abeefaako bokka abaaliwulira baalinnyonnyola n’ensonga ez’obutonde: baagamba nti, “Laddu y’ebwatuse!” Empisa eno ey’okunnyonnyola Eddoboozi nga twesigama ku mateeka g’obutonde y’eri ku kikolo ddala kya ssaayansi ey’omulembe guno. Mu bwengula obulamu era obussa omukka mulimu Ekintu eky’ekyama, eky’ekitalo ennyo, eky’entiisa ennyo amagezi gonna okukitegeera. Omuntu akkiriza tagamba nti ategeera. Afukamira n’agamba mpola nti, “Katonda.” Omuntu ow’ensi naye afukamira, naye si kusinza. Afukamira okwekenneenya, okunoonyereza, okuzuula ensonga n’engeri ebintu gye bikolamu. Kaakano tuli mu mulembe ogw’ensi. Empisa zaffe ez’okulowooza za munnassaayansi, si z’oyo asinza. Tuli kumpi okunnyonnyola okusinga okusinza. “Laddu y’ebwatuse!” bwe twogerera waggulu, ne tweyongerayo mu kkubo lyaffe ery’ensi. Naye Eddoboozi likyavuga era likyanoonya. Entegeka n’obulamu bw’ensi byesigama ku Ddoboozi eryo, naye abantu okusinga baba ne bingi nnyo bye bakola oba bakakanyavu nnyo okulifaako.

Buli omu ku ffe alina ebintu by’ayiseemu by’atasobodde kunnyonnyola: okuwulira amangu ng’oli wekka, oba okuwulira okwewuunya oba entiisa mu maaso g’obunene bw’ebitonde byonna. Oba tufunye okukyalirwa okw’akaseera akatono okw’ekitangaala, ng’okumulisibwa okuva ku njuba endala, ne kituwa mu kaseera katono ennyo obukakafu nti tuli ba nsi ndala, nti ensibuko yaffe ya Katonda. Kye twalaba eyo, oba kye twawulira mu mutima, oba kye twawulira n’amatu, kiyinza okuba nga kyali kikontana ne byonna bye twali tuyigiriziddwa mu masomero era nga kyawukana nnyo ku nzikiriza zaffe zonna n’endowooza zaffe ez’edda. Twawalirizibwa okussa ku bbali okubuusabuusa kwe twali tuyize, ng’ebire, okumala akaseera, bizingiddwa ne tulaba ne tuwulira ffe kennyini. Ne bwe tunnyonnyola ebintu ng’ebyo nga bwe twagala, ndowooza tetunnaba kuyisa bulungi mazima okutuusa nga tukkirizza waakiri nti kiyinzika ebintu ng’ebyo okuva mu Kubeerawo kwa Katonda mu nsi n’okufuba kwe okutakoma okwogera n’abantu. Tuleme okugoba ekirowoozo ng’ekyo mu ngeri ey’olusaago.

Kye nzikiriza nze kennyini (era wano sijja kunakuwala bwe wataabe muntu angoberera) kiri nti buli kirungi era ekirabika obulungi omuntu ky’akoze mu nsi kivudde mu kuddamu kwe okutali kutuukiridde era okuziyizibwa ekibi eri Eddoboozi ery’obutonzi erivuga ku nsi. Abafirosoofo b’empisa abaaloota ebirooto byabwe ebya waggulu eby’empisa ennungi, abalowoozi b’eddiini abaafumiitiriza ku Katonda n’obulamu obutaggwaawo, abayiiya b’ennyimba n’abakozi b’ebifaananyi abaggya mu bintu ebya bulijjo obulungi obulongoofu era obw’olubeerera: tuyinza tutya okubannyonnyola? Tekimala okugamba obugambi nti, “Gaali magezi ag’enjawulo.” Kale amagezi ag’enjawulo kye ki? Kiyinza okuba nti omuntu ow’amagezi ag’enjawulo ye muntu atawaanyizibwa Eddoboozi eryogera, ng’akola n’afuba ng’oyo eyakwatibwa okutuuka ku biruubirirwa by’ategeera kitono? Nti omuntu omukulu ayinza okuba nga yasubwa Katonda mu mirimu gye, nti ayinza n’okuba nga yayogera oba yawandiika ng’awakanya Katonda, ekyo tekizikiriza kirowoozo kye ndeeta. Okubikkulirwa kwa Katonda okununula mu Byawandiikibwa Ebitukuvu kwetaagisa olw’okukkiriza okulokola n’emirembe ne Katonda. Okukkiriza mu Mulokozi eyazuukira kwetaagisa bwe kiba nti okwegomba okutategeerekeka obulamu obutaggwaawo kunaatutuusa ku kussa ekimu ne Katonda okuwummuza era okumatiza. Gye ndi, eno y’ennyinnyonnyola esaanira ku byonna ebisinga obulungi ebiri ebweru wa Kristo. Naye oyinza okuba Omukristaayo omulungi n’otokkiriza ndowooza yange.

Eddoboozi lya Katonda ddoboozi lya mukwano. Tewali muntu yeetaaga kutya kuliwuliriza okuggyako nga yamaze dda okusalawo okuliziyiza. Omusaayi gwa Yesu tegubisse ggwanga ly’abantu lyokka, wabula n’ebitonde byonna. “Era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.” Tuyinza okubuulira awatali kutya Eggulu ery’omukwano. Eggulu n’ensi bijjudde ekisa ky’oyo ow’omu kisaka ekyaka. Omusaayi ogutuukiridde ogw’okutangirira gukakasa kino emirembe gyonna.

Buli anaawuliriza ajja kuwulira Eggulu eryogera. Kino mazima si kye kiseera abantu mwe basanyukira okukubirizibwa okuwuliriza, kubanga okuwuliriza leero si kitundu ku ddiini ey’ettutumu. Tuli ku ludda olulala ddala. Eddiini ekkirizza obulimba obw’ekivve nti oluyoogaano, obunene, emirimu emingi n’okwekulumbaza bye bifuula omuntu omwagalwa eri Katonda. Naye tuyinza okuguma. Eri abantu abaakwatibwa mu kibuyaga ky’olutalo olunene olusembayo Katonda agamba nti, “Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda,” era akyakigamba, ng’alinga ayagala okutubuulira nti amaanyi gaffe n’obukuumi bwaffe tebiri mu luyoogaano wabula mu kusirika.

Kikulu ffe okusirika okulindirira Katonda. Era kisinga obulungi tube ffekka, okusingira ddala nga Bayibuli yaffe ebikkuddwa mu maaso gaffe. Olwo bwe tunaayagala tuyinza okusemberera Katonda ne tutandika okumuwulira ng’ayogera naffe mu mitima gyaffe. Ndowooza eri omuntu owa bulijjo enkulaakulana ejja kuba bweti: Okusooka, okuvuga okulinga okw’Okubeerawo okutambula mu nnimiro. Oluvannyuma eddoboozi, erisingako okutegeerekeka, naye nga likyali wala okuba eritangaavu. Olwo akaseera ak’essanyu Omwoyo lw’atandika okumulisa Ebyawandiikibwa, era ekyo ekyali okuvuga obuvuzi, oba waakiri eddoboozi, kaakano ne kifuuka ekigambo ekitegeerekeka, ekibuguma, eky’oku lusegere era ekitangaavu ng’ekigambo ky’omukwano omwagalwa. Olwo obulamu n’ekitangaala biryoke bijje, era ekisinga byonna, obusobozi okulaba Yesu Kristo, okuwummulira mu ye n’okumwaniriza ng’Omulokozi, Mukama era Byonna.

Bayibuli tegenda kufuuka Kitabo kiramu gye tuli okutuusa nga tukakasizza nti Katonda ayogera mu bwengula bwe. Okubuuka okuva mu nsi enfu etaliimu buntu okutuuka ku Bayibuli ey’enjigiriza ezikakali kizibu nnyo eri abantu abasinga obungi. Bayinza okukkiriza nti basaanidde okukkiriza Bayibuli ng’Ekigambo kya Katonda, era bayinza okugezaako okugirowoozaako bwe kityo, naye ne basanga nga tekisoboka kukkiriza nti ebigambo ebyo ebiri ku lupapula mazima ddala bya bo. Omuntu ayinza okugamba nti, “Ebigambo bino byogerwa gyendi,” so nga mu mutima gwe tawulira era tamanyi nti bwe kiri. Atawaanyizibwa endowooza eyeeyawulamu. Agezaako okulowooza nti Katonda tayogera wantu wonna wonna, wabula ayogera mu kitabo kyokka.

Nzikiriza nti obutakkiriza bungi mu ddiini yaffe buva ku ndowooza enkyamu ku Byawandiikibwa by’Amazima n’enneewulira enkyamu gye tubirinamu. Katonda eyali asirise yatandika okwogera mu kitabo, era ekitabo bwe kyaggwa n’addayo mu kusirika nate emirembe gyonna. Kaakano tusoma ekitabo ng’ekiwandiiko ky’ebyo Katonda bye yayogera bwe yali, okumala akaseera katono, ng’ayagala okwogera. Nga tulina endowooza ng’ezo mu mitwe gyaffe, tuyinza tutya okukkiriza? Amazima gali nti Katonda tasirise, era tasirikangako. Mu butonde bwa Katonda mwe muli okwogera. Omuntu ow’okubiri mu Busatu Obutukuvu ayitibwa Kigambo. Bayibuli kye kibala ekitaalina kulema kuvaawo eky’okwogera kwa Katonda okutakoma. Kwe kulangirira okutasobya okw’ebirowoozo bye gye tuli, okuteekeddwa mu bigambo byaffe eby’obuntu bye tumanyi.

Ndowooza ensi empya ejja kuvaayo mu lufu lw’eddiini bwe tunaasemberera Bayibuli yaffe n’endowooza nti si kitabo kyokka ekyayogerwa edda, wabula kitabo ekyogera kaakano. Bannabbi baagambanga bulijjo nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama.” Baali bategeeza abaabawuliriza okutegeera nti okwogera kwa Katonda kuli mu kiseera ekiriwo ekitakoma. Tuyinza okukozesa ekiseera ekyayita mu ngeri entuufu okulaga nti mu kiseera ekimu ekigambo kya Katonda ekimu kyayogerwa, naye ekigambo kya Katonda bwe kimala okwogerwa kyeyongera okwogerwa, ng’omwana bw’amala okuzaalibwa bw’ayongera okuba omulamu, oba ensi bw’emala okutondebwa n’eyongera okubaawo. Era ebyo byakulabirako ebitatuukiridde, kubanga abaana bafa n’ensi ziggwaawo, naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.

Bw’oba oyagala okugenda mu maaso okumanya Mukama, jjangu amangu ddala eri Bayibuli ebikkuddwa ng’osuubira nti ejja kwogera naawe. Tojja na ndowooza nti kintu ky’oyinza okusika eno n’eri nga bw’oyagala. Kisinga ekintu: ddoboozi, kigambo, Kigambo kyennyini ekya Katonda omulamu.

Mukama, njigiriza okuwuliriza. Ebiseera bino bijjudde oluyoogaano era amatu gange gakooye amaloboozi enkumi n’enkumi ag’akasasamalo agagakuba buli kiseera. Mpa omwoyo gw’omulenzi Samwiri bwe yakugamba nti, “Yogera, Ayi Mukama kubanga omuweereza wo awulira.” Ka nkuwulire ng’oyogera mu mutima gwange. Ka mmanyiire eddoboozi lyo, amaloboozi gaalyo galyoke gambeere ga bulijjo amaloboozi ag’oku nsi bwe galiggwaawo, era eddoboozi lyokka eririsigalawo nga lwe luyimba lw’Eddoboozi lyo eryogera. Amiina.


Ekyayita Ekiddako