Essuula 1 · eddakiika 2 ez’okusoma
Ennyanjula y’Okusaba
Osobola okumanya engeri y’okusabamu ng’osoose okumanya okusaba kye kiri!
Wali weebuuzizzaako okusaba kye kiri, lwaki abantu basaba, oba lwaki abamu basaba bulijjo ng’abantu abalaba nga kye kintu ekisinga obukulu mu bulamu bwabwe? Bwe kiba bwe kityo, ekitabo kino kya ggwe! Abantu bangi baayigirizibwa ku kusaba ne baweebwa omukisa olw’ebyo bye baayigirizibwa. Kyokka abamu bakyalina ebibuuzo ku nsonga eno. Nzikiriza nti ekitabo kino kijja kuddamu ebibuuzo ebisinga obungi ku kusaba, bwe kitaba byonna. Kale lwaki tulindirira? Ka tuyingire!
Okusaba kye ki?
1. Okusaba kitiibwa, era mukisa gwa njawulo ogw’okussa ekimu n’okuba obumu ne Katonda. Okuba obumu wano kitegeeza nti omuntu amanya ekiri ku mutima gwa Katonda era asobola okukola Katonda ky’amugamba. Mu bumu buno, osobola okumanya endowooza ya Kristo, okubeera nga Kristo, okulowooza nga Ye, n’okuba omutuukirivu nga Ye bw’ali omutuukirivu. Ekyo okusaba kye kukola; kukuyamba okubeera mu kussa ekimu okwo, mu bumu obwo ne Katonda, mw’osobolera okumanya eky’okukola mu buli mbeera y’obulamu. Nga kirungi nnyo!
2. Okusaba lukubo olutambuza enjuyi zombi. Katonda ayogera naffe, era naffe tuweereddwa omukisa okwogera naye.
Noolwekyo, okusaba tekuli era tekusaanira kulowoozebwa ng’olukubo olw’oludda lumu, gye tusabira ne tuvaawo ne tugenda. Nedda! Katonda naye ayogera, era gano ge makulu gennyini ag’okusaba: okussa ekimu ne Katonda, okumutegeera obulungi, n’okumanya by’ayagala. Mu biseera byo eby’okusaba, weeteereteere okuwa Katonda ebbanga naye okwogera naawe. Bw’otyo bw’omanya omutima gwe, ne by’ayagala.
Aleruya!
3. Okusaba ate era kyetaagisa. Mu Lukka 18:1 tusoma nti: “Abantu bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo.” Kitegeerekeka bulungi nti kino si kusaba busabi — kiragiro. Ekyawandiikibwa tekigamba nti abantu bayinza oba banaayagalanga okusaba. Wabula kigamba nti abantu bagwanidde okusaba n’obutaggwaamu mwoyo. Kino kitegeeza nti okusaba kuteekwa okubeera ekitundu ky’olunaku lwo; ate era ebiseera by’okusaba bisobola okubeera ebiseera ebisinga okusanyusa mu lunaku lwo. Kale okusaba kubeere mpisa ya bulamu bwo; nga bw’olya ne bw’oba nga tokyagala.
Yesu Kristo, ekyokulabirako ekituukiridde. Newaakubadde nga yali amanyi nti ye Mwana wa Katonda Ali Waggulu Ennyo, Yesu yali mwetoowaze n’asaba. Kino tukiraba mu Lukka 6:12: “Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu n’alinnya waggulu ku lusozi okusaba, n’asaba ekiro kyonna eri Katonda.”
Omwagalwa, tobeeranga na mirimu mingi n’olema okusaba, era tolowoozanga nti walibaawo ekiseera lw’otolibaayo na kyetaago kya kusaba nate.
Okusaba y’entunnunsi y’obulamu bwa buli mukkiriza. Awatali kusaba, toyinza kussa kimu ne Katonda nga Yesu bwe yakola. Awatali kusaba, oyinza obutamanya Kitaffe by’ayagalira obulamu bwo. Awatali kusaba, kiyinza obutasoboka ggwe okukozesa obuyinza bwo mu Kristo. Kino kitegeeza okutwala obuyinza n’okuleetera ebintu ebiri mu Kristo Yesu okubaawo. Era oyinza okufuba ennyo okuzuukusa n’okutambulira mu kutegeera okubeerawo kwa Katonda mu bulamu bwo, n’ebintu ebirala bingi bye tunaannyonnyola mu ssuula eziddako.