Essuula 5 · eddakiika 4 ez’okusoma · eddakiika 6 ez’okuwuliriza
Okusaba, ekyetaagisa ekisinga obukulu
Omanyi omuwendo gw’okusaba: kwa muwendo okusinga omuwendo gwonna. Tokulagajjaliranga n’akatono, nedda, tokulagajjaliranga—Sir Thomas Buxton
Okusaba kye kintu ekisooka, eky’okubiri, n’eky’okusatu ekyetaagisa omuweereza. Kale, owooluganda omwagalwa, saba: saba, saba, saba—Edward Payson
OKUSABA, mu bulamu bw’omubuulizi, mu kisenge mw’asomera, ne ku kituuti kye, kuteekwa okuba amaanyi agalabikira ddala era agabuna buli kantu, era ekirungo ekiwa buli kimu langi yaakyo. Tekuteekwa kubeera kya kubiri, wadde okuba olususu obulusu olw’okungulu. Omubuulizi aweereddwa okubeera ne Mukama we nga muntu “asaba ekiro kyonna”. Omubuulizi, okwetendeka mu kusaba okwefiiriza, alagirwa okutunuulira Mukama we, oyo, ng’obudde tebunnalaba, “n’azuukuka n’agenda yekka mu kifo ekyekusifu, okusaba.” Ekisenge omubuulizi mw’asomera kyandibadde kisenge kya kusaba eky’ekyama, Beseri, ekyoto, okwolesebwa, era eddaala, buli kirowoozo kisooke kirinnye eri eggulu nga tekinnakka eri abantu; buli kitundu ky’obubaka kiwunyiremu empewo ey’omu ggulu era kifuuke kya kitiibwa, kubanga Katonda yali mu kisenge omwo.
Nga yingini bw’etetambula okutuusa omuliro lwe gukoleezebwa, bwe kityo n’okubuulira, ne byonna bye kwesigamako, obutuukirivu bwakwo n’obulungi bwakwo, kuyimirira butengerera, ku bikwata ku bibala eby’omwoyo, okutuusa okusaba lwe kukoleeza omuliro ne kuzaala omukka. Engeri obubaka gye bulukibwamu, obulungi bwabwo n’amaanyi gaabwo, biba kasasiro kasasiro okuggyako ng’amaanyi amangi ag’okusaba gali mu bwo, gabuyitamu, era gabuli emabega. Omubuulizi ateekwa, ng’ayita mu kusaba, okuteeka Katonda mu bubaka. Omubuulizi ateekwa, ng’ayita mu kusaba, okukyusa Katonda okutunula eri abantu nga tannaba kusobola kukyusa bantu kudda eri Katonda n’ebigambo bye. Omubuulizi ateekwa okuba nga yasooka okuweebwa omukisa okwogera ne Katonda n’okumutuukako awatali kiziyiza nga tannaba kusobola kutuuka ku bantu. Ekkubo eriggule eri Katonda ku lw’omubuulizi ge musingo ogusinga obukakafu nti n’ekkubo eri abantu lijja kubeera liggule.
Kyetaagisa okwogera n’okuddamu okwogera nti okusaba, bwe kuba nga mpisa bupisa, nga kintu kye bakola olw’omuze oba ng’omulimu ogw’obukugu, kiba kintu kifu era ekivunze. Okusaba ng’okwo tekulina kakwate na kusaba kwe tukubiriza. Tuggumiza okusaba okw’amazima, okukwata ne kukoleeza buli kintu ekya waggulu mu bulamu bw’omubuulizi—okusaba okuzaalibwa mu kwegatta okulamu ne Kristo n’okujjula kw’Omwoyo Omutukuvu, okuva mu nsulo enzito ezikulukuta ez’okusaasira okw’ekisa, n’okweraliikirira okutaggwaawo olw’obulungi obw’olubeerera obw’abantu; obunyiikivu obwokya olw’ekitiibwa kya Katonda; n’okukakasa okujjuvu nti omulimu gw’omubuulizi muzibu era gwetaaga obwegendereza, era nti yeetaaga nnyo obuyambi bwa Katonda obusinga amaanyi. Okusaba okwesigamye ku kukakasa kuno okw’amaanyi era okw’ebuziba kwe kusaba kwokka okw’amazima. Okubuulira okuwagirwa okusaba ng’okwo kwe kubuulira kwokka okusiga ensigo z’obulamu obutaggwaawo mu mitima gy’abantu era okuzimba abantu okutuuka mu ggulu.
Kituufu nti wayinza okubaawo okubuulira okwettanirwa abangi, okubuulira okusanyusa, okubuulira okusikiriza, okubuulira okulimu amaanyi mangi ag’amagezi, ag’olulimi n’ag’obwongo, nga kulina ekigero kyakwo n’engeri yaakwo ey’obulungi, ate nga tekulimu kusaba oba nga kulimu kutono nnyo; naye okubuulira okutuukiriza ekigendererwa kya Katonda mu kubuulira kuteekwa okuzaalibwa mu kusaba, okuva ku kyawandiikibwa ky’asinziirako okutuuka ku nnyanjula, kubuulirwe n’amaanyi n’omwoyo gw’okusaba, kugobererwe era kumezebwe, era kukuumibwe nga kulamu mu mitima gy’abawuliriza olw’okusaba kw’omubuulizi, ebbanga ddene ng’olukuŋŋaana luwedde.
Tuyinza okwekwasa ensonga nnyingi olw’obwavu obw’omwoyo obuli mu kubuulira kwaffe, naye ekyama ekituufu kijja kuzuulibwa mu bubulwa bw’okusaba okw’amaanyi olw’okubeerawo kwa Katonda mu maanyi g’Omwoyo Omutukuvu. Waliwo ababuulizi abatabalika abasobola okubuulira obubaka obw’ekikugu mu ngeri yaabwe; naye ebivaamu tebiwangaala era tebiyingira n’akatono mu bitundu by’omwoyo, olutalo olw’entiisa wakati wa Katonda ne Setaani, wakati w’eggulu ne ggeyeena, gye lulwanirwa, kubanga obubaka obwo tebufuulibwa bwa maanyi mu lutalo era obuwanguzi mu mwoyo olw’okusaba.
Ababuulizi abaleetera Katonda ebibala eby’amaanyi be bantu abaasooka okuwangula mu kwegayirira kwabwe ne Katonda nga tebanneetantala kwegayirira bantu. Ababuulizi abasinga amaanyi mu bisenge byabwe eby’ekyama ne Katonda, be basinga amaanyi ku bituuti byabwe mu maaso g’abantu.
Ababuulizi bantu, era bakwatibwako, era emirundi mingi basikirizibwa, amayengo ag’amaanyi ag’obuntu. Okusaba mulimu gwa mwoyo; era obuntu tebwagala mulimu gwa mwoyo oguzitowa. Obuntu bwagala okuseeyeeya okutuuka mu ggulu nga empewo ennungi ebuwagira, ku nnyanja ejjudde era ekkakkamu. Okusaba mulimu ogukkakkanya omuntu. Kukkakkanya amagezi n’amalala, kukomerera ku musaalaba okwenyumiriza okutaliimu, era kussa omukono ku kiwandiiko ekikakasa nti twawemuka mu by’omwoyo, era ebyo byonna bizibu omubiri n’omusaayi okubigumiikiriza. Kyangu obutasaba okusinga okubigumiikiriza. Bwe tutyo tutuuka ku kimu ku bibi ebisinga okweyoleka mu biseera bino, oboolyawo mu biseera byonna—okusaba okutono oba obutasaba n’akamu. Ku bibi ebyo ebibiri, oboolyawo okusaba okutono kubi okusinga obutasaba. Okusaba okutono kwa kwefuula, ddagala erikkakkanya omutima ogulumiriza, kazannyo era bulimba.
Omuwendo omutono gwe tuwa okusaba gweyolekera mu budde obutono bwe tukuwa. Obudde omubuulizi owa bulijjo bw’awa okusaba tebubalibwa n’akamu bw’ogatta obudde bwonna obw’olunaku. Emirundi egitali mitono, okusaba kwokka omubuulizi kw’akola kuba ku mabbali g’obuliri bwe ng’ayambadde engoye ez’okwebaka, ng’ayagala okugalamira era amangu ddala n’agalamira, oboolyawo ne yeegattako okusaba okutono okw’amangu ku makya nga tannaba kwambala. Okusaba ng’okwo nga kunafu, nga tekuliimu, era nga kutono bw’okugeraageranya n’obudde n’amaanyi abantu abatukuvu abali mu Bayibuli n’abatali mu yo bye baawanga okusaba! Okusaba kwaffe okutono, okw’obuto, nga kwavu era kwa wansi bw’okugeraageranya n’empisa z’abantu ba Katonda ab’amazima mu mirembe gyonna! Abantu abatwala okusaba ng’omulimu gwabwe omukulu, era ne bakuwa obudde nga bwe kisaanira okukitwala okuba eky’omugaso ennyo, be Katonda b’akwasa ebisumuluzo by’obwakabaka bwe, era be bayitamu okukola eby’amagero bye eby’omwoyo mu nsi muno. Okusaba okw’amaanyi kye kabonero n’envumbo y’abakulembeze ba Katonda abakulu, era omusingo gw’amaanyi ag’obuwanguzi Katonda g’alitikkiramu emirimu gyabwe engule.
Omubuulizi yatumibwa okusaba era n’okubuulira. Obutume bwe tebuba bujjuvu bw’atakola byombi bulungi. Omubuulizi ayinza okwogera n’obulungi bwonna obw’ennimi z’abantu n’eza bamalayika; naye bw’ataba na kusobola kusaba n’okukkiriza okuleeta eggulu lyonna okumuyamba, okubuulira kwe kuliba “ng’ekidde, ekireekaana oba ng’ekitaasa ekisaala” mu bikwata ku mirimu egy’olubeerera egiweesa Katonda ekitiibwa era egirokola emyoyo.
Essuula 5 ewedde
Okusaba, ekyetaagisa ekisinga obukulu