Essuula 11 · eddakiika 5 ez’okusoma · eddakiika 7 ez’okuwuliriza
Engeri y’Okuyambamu Abakakanyavu n’Abaalimbibwa
1. Abakakanyavu
Waliwo ebika by’abakakanyavu ebiwerako. Ng’ekyokulabirako, waliwo abo abagamba nti “Saagala oyogere nange.” Mu mbeera ng’eyo, okutwalira awamu kisinga obulungi okumuwa ekitundu ky’Ebyawandiikibwa ekisongovu, n’okireka kyogere kyokka, olwo n’oleka omuntu oyo yekka afumiitirize ku kyo. Abaruumi 6:23; Abaebbulaniya 10:28, 29; Abaebbulaniya 12:25; Makko 16:16; Engero 29:1, n’Engero 1:24‒33, bye bitundu ebirungi ku nsonga eno.
Ate waliwo abo abagamba nti “Siyinza kusonyiwa.” Matayo 6:15 ne 18:23‒35, birungi okukozesa kubanga biraga nti balina okusonyiwa oba si ekyo babula. Abafiripi 4:13, ne Ezeekyeri 36:26, bijja kubalaga engeri gye bayinza okusonyiwamu. Waliwo abantu bangi nnyo abaziyizibwa okujja eri Kristo olw’omwoyo ogutasonyiwa. Oluusi obuzibu buno buyinza okuggibwawo ng’oleetedde omuntu oyo okufukamira mu kusaba n’asaba Katonda amuggyemu omwoyo gwe ogutasonyiwa. Lumu nnamala ebbanga ddene nga mpaka n’omukazi eyali anoonya, eyali akubiddwa nnyo mu mutima olw’ebibi bye, naye nga aziyizibwa okukkiriza Kristo olw’obukyayi bwe yalina mu mutima gwe eri omuntu eyali amukoze obubi. Yeeyongera okukalambira nti tayinza kusonyiwa. Ku nkomerero ne ŋŋamba nti, “ka tufukamire tubuulire Katonda ku nsonga eno.” Ekyo n’akikkiriza, era twali twakafukamira n’atulika n’akaaba amaziga mangi, obuzibu ne buggwaawo, n’akkiriza Kristo amangu ddala.
Ate waliwo abo abagamba nti “Ensi ngyagala nnyo ekisukkiridde.” Makko 8:36, kye kyawandiikibwa ekikulu eky’okukozesa ku bantu ab’ekika kino. Lukka 14:33, kijja kulaga nti kyetaagisa ddala okulekulira ensi. Lukka 12:16‒20; 1 Yokaana 2:15, 16, 17, bijja kulaga obusirusiru bw’okwekwata ku nsi, ate Zabbuli 84:11, n’Abaruumi 8:32, bijja kulaga nti Mukama tajja kubammanga kirungi kyonna.
Waliwo abo abagamba nti “Siyinza kwatula kibi kye nnakola.” Engero 28:13, kijja kulaga ennaku n’obuyinike ebiteekwa okuddirira okuggyako ng’ekibi kyatuddwa. Abalala bajja kugamba nti “Saagala kwatula Kristo mu lwatu.” Abaruumi 10:10; Matayo 10:32, 33, bijja kulaga nti Katonda tajja kukkiriza kirala kyonna. Makko 8:38; Yokaana 12:42, 43, n’Engero 29:25, bijja kulaga akabi akali mu butamwatula. Waliwo abo abagamba nti “Njagala kukola nga bwe njagala.” Isaaya 55:8‒9, kijja kulaga ekkubo lya Katonda bwe lisinga ennyo obulungi, ate Engero 14:12, kiraga ebiva mu kukwata ekkubo lyaffe ffekka. Ku nkomerero waliwo abo abagamba nti “Sikkiriza Kristo era simugaana.” Matayo 12:30, kijja kulaga nti balina okukola ekimu ku ebyo ebibiri. Olunyiriri luno lukozeseddwa okuleetera bangi nnyo okuwulira omusango gw’ebibi byabwe.
2. Abaalimbibwa
a. Wansi w’omutwe guno mwe muli Abakatoliki ab’e Rooma. Engeri ennungi ey’okukola n’Omukatoliki kwe kumulaga obwetaavu bw’okuzaalibwa obuggya, n’okuzaalibwa obuggya kye kuli. Yokaana 3:3, 5, 7, kiraga obwetaavu bw’okuzaalibwa obuggya. Okuzaalibwa obuggya kye kuli kulagibwa mu Ezeekyeri 36:25‒27; 2 Abakkolinso 5:17; 2 Peetero 1:4. Abakatoliki bangi bategeera nti okuzaalibwa obuggya kitegeeza okubatizibwa, naye kyangu okubalaga nti ebigambo ebikozesebwa tebituukagana na kubatizibwa. Okusukka ku ekyo, mu 1 Abakkolinso 4:15, Pawulo agamba Abakristaayo ab’e Kkolinso nti yabazaala buggya okuyita mu njiri. Singa okuzaalibwa obuggya kwali kutegeeza kubatizibwa, yandibadde nga yababatiza, naye mu 1 Abakkolinso 1:14, alangirira nti teyababatiza. Ebikolwa by’Abatume 8:13, 21, 23, kiraga nti omuntu ayinza okubatizibwa, naye omutima gwe ne gutaba “mulongoofu mu maaso ga Katonda” n’oyo n’agambibwa nti “Mu nsonga eno tolinaamu mugabo.” Kirungi okwongera omutendera omulala n’olaga omuntu gw’oyogera naye obujulizi bw’okuzaalibwa obuggya bwe buli. 1 Yokaana 2:29; 3:9, 14‒17; 5:1, 4, biwa obujulizi bwa Bayibuli obw’okuzaalibwa obuggya. Ekibuuzo ekiddako ekijja okubuuzibwa kiri nti “Omuntu azaalibwa atya obuggya.” Ekibuuzo kino kiddibwamu mu Yokaana 1:12; 1 Peetero 1:23; Yakobo 1:18.
Ebikolwa by’Abatume 3:19, kyawandiikibwa kirungi eky’okukozesa eri Abakatoliki kubanga kiraga obwetaavu bw’okwenenya n’okukyuka. Okwenenya kye kuli kujja kulagibwa mu Isaaya 55:7; Yona 3:10. Engeri endala ey’okukola n’Abakatoliki kwe kubalaga nti kya nkizo eri omukkiriza okumanya nti alina obulamu obutaggwaawo. Abakatoliki kumpi bulijjo tebalina bukakafu. Tebamanyi nti basonyiyiddwa, wabula basuubira okusonyiyibwa olunaku lumu. Bw’oba osobola okubalaga nti tusobola okumanya nti tusonyiyiddwa era nti tulina obulamu obutaggwaawo, kijja kuzuukusa mu bangi ku bo okwegomba obukakafu buno. 1 Yokaana 5:13, kiraga nti kya nkizo eri omukkiriza okumanya. Ebikolwa by’Abatume 13:38, 39; 10:43, Yokaana 3:36, bya mugaso nnyo mu kubatuusa ku bukakafu buno. Engeri endala nate ey’okukola nabo (naye si kirungi kugikozesa okutuusa ng’omaze okubaako w’otuuka nabo) kwe kubalaga omugaso gw’okusoma Bayibuli. Ebyawandiikibwa ebirungi ku nsonga eno ye Yokaana 5:39; 1 Peetero 2:1, 2; 2 Timoseewo 3:13‒17; Yakobo 1:21, 22; Zabbuli 1:1, 2; Yoswa 1:8; Makko 7:7, 8, 13; Matayo 22:29. Ebyawandiikibwa bino, okuggyako ekyo ekiri mu 1 Peetero 2:1, 2, kumpi byonna bye bimu mu Bayibuli eya “Douay” oba ey’Abakatoliki nga bwe biri mu Bayibuli ey’Abapulotestanti, era emirundi mingi kiba kirungi, ng’okola n’Omukatoliki, okukozesa Bayibuli ey’Abakatoliki.
Engeri endala nate ey’okukola n’Omukatoliki kwe kukozesa enkola y’emu gy’owandikozesezza ng’okola n’omwonoonyi atenenyezza—kwe kugamba, okuzuukusa mu ye okutegeera nti mwonoonyi era yeetaaga Kristo. Ku nsonga eno kozesa Matayo 22:37, 38; Abaggalatiya 3:10, 13; Isaaya 53:6.
Abantu bangi balowooza nti tekiriimu mugaso kwogera n’Abakatoliki, nti tebayinza kuleetebwa eri Kristo. Eyo nsobi nnene. Bangi ku bo beegomba ekintu kye batasanga mu kkanisa y’Abakatoliki, era bw’oba osobola okubalaga okuva mu kigambo kya Katonda engeri y’okukifunamu, bakkiriza mu ngeri ennyangu ennyo, era bafuuka Abakristaayo abanyiikivu ennyo. Tolumba kkanisa y’Abakatoliki. Bawe amazima, n’ensobi, ekiseera bwe kirituuka, zijja kweggyawo zokka. Emirundi mingi okulumba kwaffe kwolesa bwolesa obutamanya bwaffe.
Waliwo ensonga emu kwe tuba n’enkizo bulijjo nga tukola n’Omukatoliki; kwe kuba nti mu Bukristaayo nga ffe bwe tubumanyi mulimu emirembe n’amaanyi ebitali mu Bukristaayo nga bo bwe babumanyi, era enjawulo eyo bagitegeera bulungi.
b. Abayudaaya. Engeri esinga obulungi ey’okukola n’Omuyudaaya kwe kumulaga nti Bayibuli ye yennyini esonga ku Kristo. Ebitundu ebisinga okuyamba okukozesa ye Isaaya 53; Danyeri 9:26; Zekkaliya 12:10. Waliwo n’ebitundu eby’omugaso mu Ndagaano Empya; ekitabo kyonna eky’Abaebbulaniya, naddala essuula ey’omwenda n’ey’ekkumi, n’essuula ey’omusanvu, okuva ku lunyiriri 25 okutuuka ku 28, n’Enjiri ya Matayo yonna. Abayudaaya bangi nnyo leero banoonyereza ku ebyo Yesu ow’e Nazaaleesi bye yeeyogerako, era beetegefu okutuukirirwa ku nsonga eno. Obuzibu obukulu obuziyiza Omuyudaaya okweyoleka ng’Omukristaayo kwe kuyigganyizibwa okw’entiisa kw’ateekwa okugumiikiriza bw’akikola. Obuzibu buno buyinza okuddibwamu n’ebitundu ebimaze okuweebwa wansi w’omutwe “Abo Abatya Okuyigganyizibwa.”
(Okumanyisa. Waliwo obupapula obulungi obuwerako obw’Abayudaaya obuyinza okufunibwa okuva mu Mildmay Mission to the Jews, 79 Mildmay Road, London.)
c. Abeebuuza ku mizimu. Ebyabaleevi 19:31; 20:6; Ekyamateeka Olwokubiri 18:10‒12; 2 Bassekabaka 21:1, 2, 6; 1 Ebyomumirembe 10:13; Isaaya 8:19, 20; 1 Yokaana 4:1‒3; 2 Basessaloniika 2:9‒12, bye bitundu eby’okukozesa eri abantu ab’ekika kino.
Ng’okola n’ebika byonna eby’abantu abaalimbibwa, kirungi okutandika ng’okozesa Yokaana 7:17, n’obatuusa we baagalira ddala n’omutima gwabwe gwonna okumanya amazima. Tewali ssuubi lya kuggya muntu mu bulimba bwe, okuggyako ng’ayagala okumanya amazima.
Essuula 11 ewedde
Engeri y’Okuyambamu Abakakanyavu n’Abaalimbibwa