Essuula 1 · eddakiika 1 ez’okusoma

Ebikwata ku Mwandiisi

Gareth, ne mukazi we Anne, bombi baazaalibwa era baakulira mu Wales. Baafumbiriganwa mu 1961, oluvannyuma Gareth ng'amaze okufuna diguli ye eya Bachelor of Science mu Physics n'ekitiibwa, awamu ne Diploma mu by’Enjigiriza, okuva mu Yunivasite ya Wales. Mu 1975, baasenguka ne bagenda mu Canada, Gareth gye yeeyongera n’omulimu gwe yeerondera ogw’okuba omusomesa wa Physics mu ssomero lya sekendule. Mu 1979, yayitibwa okuba omusumba w’ekkanisa mu Kitchener, mu Ontario, ng’ali mu kibiina kya Christian and Missionary Alliance.

Nga wayiseewo emyaka ena, yafuna okuyitibwa okugenda e Victoria, mu British Columbia, gye yaba omusumba okumala emyaka munaana egyaddirira, era gye babeera ne kaakano.

Mu 1990, Gareth yayitibwa okuweereza ng’omusumba (chaplain) ku kyombo ekya Mercy Ship, M/V Anastasis, ekyakoleranga wakati wa Bulaaya ne Afrika ey’Ebugwanjuba.

Eyo, ye ne Anne, gye baaweereza abakozi b’ekyombo, era baafuna emikisa mingi egy’okwogera mu makanisa, mu misomo gy’abasumba, ne mu nkuŋŋaana z’ababaka b’enjiri. Kasookedde bava ku kyombo mu 1994, Gareth atambudde nnyo, ng’ayigiriza mu masomero ag’okutendeka abayigirizwa ne mu nkuŋŋaana ez’enjawulo. Gareth ne Anne balina bawala basatu, bazzukulu mwenda, ne bazzukulu ba bazzukulu kkumi.

Olupapula 1 / 1 · 1 eddakiika zisigadde mu ssuula