Essuula 6 · eddakiika 2 ez’okusoma · eddakiika 3 ez’okuwuliriza
Okufundikira
OKUFUNDIKIRA KW’EKITABU
1. Mu kukemebwa kwonna kwe nnali nsanze mu bulamu bwange, okubuusabuusa okubaawo kwa Katonda, n’amazima g’enjiri Ye, kwe kusinga obubi, era kwe kusinga okuzibu okugumiikiriza; okukemebwa kuno bwe kujja, kunzigyako olukoba lwange, ne kuggyawo emisingi wansi wange. Oh, emirundi mingi ndowoozezza ku kigambo ekyo, ‘ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe’; ne ku kiri, ‘Emisingi nga gizikirizibwa, omutuukirivu ayinza kukola ki?’
2. Oluusi, bwe nnamalanga okukola ekibi, ne nnindirira okukangavvulwa okw’amaanyi okuva mu mukono gwa Katonda, ekintu ekyasookanga okunzijira okuva gy’ali kwe kwolesebwa kw’ekisa kye. Oluusi, bwe mbadde mbudaabuddwa, neeyise musirusiru olw’okugwa ennyo bwe ntyo wansi w’ennaku. Ate era, bwe nnagwangamu amaanyi, nnalowooza nti saali mugezi okuwa okubudaabudibwa ekifo ekyenkanidde awo. Ebyo byombi byabanga ku nze n’amaanyi n’obuzito bwe butyo.
3. Neewuunyizza nnyo ekintu kino ekimu, nti newaakubadde nga Katonda akyalira emmeeme yange n’okwolesebwa okw’omukisa ennyo okwa ye yennyini, naye nzudde nate nti essaawa ezimu zinzijidde oluvannyuma, nga mu mwoyo gwange nzijudde ekizikiza, nga sisobola wadde omulundi ogumu okutegeera Katonda oyo kye ali n’okubudaabudibwa kuli kwe nnali nfunye ne kunzizzaamu obuggya.
4. Oluusi ndabye mu lunyiriri lumu olwa Bayibuli ebisinga bye nnandisobodde okugumira, ate mu kiseera ekirala Bayibuli yonna ebadde gye ndi nkalu ng’omuggo; oba okusingawo, omutima gwange gubadde mufu era mukalu gy’ali, nga sisobola kufunamu wadde akatundu akatono ennyo ak’okuzzibwa obuggya, newaakubadde nga ngyetegerezza yonna.
5. Mu maziga gonna, agasinga obulungi ge gaaleetebwa omusaayi gwa Kristo; ne mu ssanyu lyonna, erisinga obuwoomi lye ritabuddwamu okukungubagira Kristo. Oh! kintu kirungi nnyo okubeera ku maviivi gaffe, nga Kristo ali mu mikono gyaffe, mu maaso ga Katonda. Nsuubira nti mmanyiiko katono ku bintu bino.
6. Ne leero nsanga mu mutima gwange eby’omuzizo musanvu: (1) Okusikirizibwa eri obutakkiriza. (2) Okwerabira amangu okwagala n’okusaasira Kristo by’alaga. (3) Okwesigama ku bikolwa by’amateeka. (4) Okuwaba n’obunyogovu mu kusaba. (5) Okwerabira okutunula nga nnindirira kye nsaba. (6) Okwanguyirwa okwemulugunya kubanga sirina bingi, ate nga ndi mwetegefu okukozesa obubi bye nnina. (7) Siyinza kukola kintu na kimu ku ebyo Katonda by’andagira, nga obwonoonefu bwange tebwesindise mu byo, ‘nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi.’
7. Ebintu bino mbiraba era mbiwulira buli kiseera, era bimbonyaabonya era binnyigiriza; naye amagezi ga Katonda gabitegeka okuba olw’obulungi bwange. (1) Bindeetera okwetamwa. (2) Binziyiza okwesiga omutima gwange. (3) Bimmatiza obutamala bwa butuukirivu bwonna obuli mu nze. (4) Bindaga obwetaavu bw’okuddukira eri Yesu. (5) Binkubiriza okusaba Katonda. (6) Bindaga obwetaavu bwe nnina obw’okutunula n’okuba omutebenkevu. (7) Era binkubiriza okutunuulira Katonda, mu Kristo, annyambe, era ampise mu nsi eno. Amiina.