Omuzabbibu ogw’Amazima
Kitange Agulumizibwa

Essuula 18 · eddakiika 2 ez’okusoma · eddakiika 3 ez’okuwuliriza

Kitange Agulumizibwa

Bwe mubala ebibala ebingi, … ne Kitange, agulumizibwa—Yokaana 15:8

Tuyinza tutya okugulumiza Katonda? Si lwa kwongera ku kitiibwa kye wadde okumuleetera ekitiibwa ekipya ky’atalina. Wabula lwa kuganya buganya kitiibwa kye okwakaayakana nga kiyita mu ffe, olw’okwewaayo gy’ali, ekitiibwa kye kyeyolese mu ffe era kiyite mu ffe okutuuka eri ensi. Ennimiro y’emizabbibu oba omuzabbibu ogubala ebibala ebingi bigulumiza nannyini gwo, kubanga byoleka obukugu bwe n’obwegendereza bwe. Mu muyigirizwa abala ebibala ebingi, Kitaffe agulumizibwa. Mu maaso g’abantu ne bamalayika, wabaawo obujulizi obw’ekitiibwa ky’ekisa kya Katonda n’amaanyi ge; ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana nga kiyita mu ye.

Kino Peetero ky’agamba bw’awandiika nti: “Ayamba, akikolenga n’amaanyi gonna Katonda g’amuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo.” Omuntu bw’akola era n’aweereza mu maanyi agava eri Katonda yekka, Katonda y’afuna ekitiibwa kyonna. Bwe twatula nti amaanyi gaava eri Katonda yekka, oyo akola omulimu n’abo abagulaba bonna bagulumiza Katonda. Katonda ye yakikola. Abantu bategeerera ku bibala by’ennimiro omulimi waayo bw’ali. Abantu bategeerera Katonda ku bibala amatabi g’Omuzabbibu gwe yasimba bye gabala. Ebibala ebitono bireetera Katonda ekitiibwa kitono. Tebiweesa kitiibwa Muzabbibu wadde Omulimi. “Bwe mubala ebibala ebingi, … ne Kitange, agulumizibwa.”

Oluusi tukaabidde obutabala bibala kwaffe, nga tukutwala ng’okufiirwa eri ffe ne bantu bannaffe, ne twemulugunya nti obunafu bwaffe bwe buvuddeko. Naye ka tulowooze nnyo ku kibi n’ensonyi ez’ebibala ebitono, kubanga binyaga Katonda ekitiibwa kye yandifunye okuva gye tuli. Ka tuyige ekyama ky’okuleetera Katonda ekitiibwa, nga tuweereza n’amaanyi Katonda g’atuwa. Okukkiriza ddala ekigambo kya Kristo nti, “temuliiko kye muyinza kukola”; okukkiriza okwangu mu Katonda akola byonna mu byonna; okubeera mu Kristo, Omulimi ow’obwakatonda mw’ayita okukola omulimu gwe n’afuna ebibala ebingi—buno bwe bulamu obuliweesa Katonda ekitiibwa.

Ebibala ebingi—Katonda abisaba; kakasa nti obimuwa. Katonda tayinza kumatira na kitono ku ebyo; naawe tomatiranga na kitono ku ebyo. Ebigambo bino ebya Kristo—ebibala, ebibala ebisingawo, ebibala ebingi—bibeere mu ggwe, okutuusa lw’onoolowooza nga bw’alowooza, n’oba mwetegefu okutoola gy’ali, Omuzabbibu ogw’omu ggulu, ekyo ky’akutegekedde. Ebibala ebingi, ne Kitange, agulumizibwa. Obunene bw’ekyo ky’asaba bubeere ekikuzzaamu amaanyi. Kisukkiridde nnyo amaanyi go, ne kikusindika okwesigama ddala ku Kristo, Omuzabbibu gwo ogw’amazima. Ye asobola, era ajja, okukituukiriza mu ggwe.

Ebibala ebingi—Katonda abisaba kubanga abyetaaga. Tasaba bibala okuva ku matabi g’Omuzabbibu gwe lwa kwolesa bwolesa, okulaga ky’ayinza okukola. Nedda; abyetaaga olw’obulokozi bw’abantu: omwo mw’agulumizibwa. Weesuule ku Muzabbibu gwo ne ku Mulimi wo ng’osaba nnyo. Kaabirira Katonda Kitaawo akuwe ebibala by’oneetwalira abantu. Weetikke omugugu gw’abalumwa enjala n’abazikirira, nga Yesu bwe yakola bwe yabasaasira, era amaanyi go mu kusaba, n’okubeera kwo mu Kristo, n’okubala kwo ebibala ebingi olw’ekitiibwa kya Kitaffe, bijja kubaamu amazima n’obukakafu bye wali tonnamanya.

Kitange, agulumizibwa. Ekisuubirwa eky’omukisa—Katonda yeegulumiza mu nze, ng’alaga ekitiibwa ky’obulungi bwe n’amaanyi ge mu ebyo by’akola mu nze ne mu ebyo by’ayisa mu nze. Nga kino kye kinsikiriza okubala ebibala ebingi, nga bw’akola mu nze! Kitaffe, weegulumize mu nze.

Olupapula 1 / 1 · 2 eddakiika zisigadde mu ssuula
Ekyayita Ekiddako