Essuula 30 · eddakiika 6 ez’okusoma
Okuyingira mu Mulembe Omuggya
Twayingira omwaka gwa 2000 nga tuli mu maka ga muwala waffe mu Canberra, mu Australia. Olw’okuba olukoloboze lw’ennaku olw’ensi yonna (international dateline) luli mu bugwanjuba obw’okumpi ne Australia, ensi eyo yali ng’emu ku ez’olubereberye okwaniriza omulembe omuggya. Entiisa abantu bangi gye baalina, nti ebikangabwa ebinene byandibuutikidde ensi yonna olw’emikompyuta okulemererwa n’obutakwatibwa bulungi kw’amakolero, teyatuukirira n’akatono, era ebijaguzo ebinene okwetooloola ensi yonna byalabibwa ku tterevi. Australia yeewaana ng’ensi ennene eyasooka okulangirira okwaniriza kwayo eri ensi yonna.
Omwalo gwa Sydney (Sydney harbour) gwe gwalagibwa ng’essaawa ez’ekiro eky’omu ttumbi zisembera. Amangwago, byonna byazikira nga tewannaba mmuli za muliro ezitangaala (fireworks) okumasamasa eggulu ery’ekiro, nga bikoma n’okumasamasa okw’ekitalo ku buwanvu bwonna obw’olutindo lwa Sydney harbour olwatutumufu. Ekigambo kimu kyeeyoleka – OBUTAGGWAAWO. AbanaAustralia abasinga obungi baalitegeera amakulu g’ekigambo ekyo, wadde ng’abalala abasinga baali tebagategeera.
Okumala emyaka mingi, omuntu bwe yayitanga mu nguudo za Sydney, wandisanze ku bibangirizi nga kiwandiikiddwa n’ecoloki, ekigambo kino kimu. Kyali mulimu gwa musajja mukadde, eyali edda omutamiivu eyabeeranga mu nguudo, eyayingira mu Mission Hall n’awulira omwogezi ng’alangirira nti, “Singa waaliwo ekigambo kimu kyokka kye nnandiyinzizza okuwandiika mu ggulu abantu bonna balyoke bakirowoozeeko, kyandibadde kigambo ‘obutaggwaawo’ – olibumaliza wa?”
Obulamu bwe bwakyusibwa olw’okulowooza ku kibuuzo ekyo, bw’atyo ne yeewaayo okuwandiika ekigambo ‘obutaggwaawo’ buli gy’agenda ng’obujulizi eri abalala. Kyali kya kitalo nti gavumenti ya Australia yeeyambisa ekigambo kye kimu okwaniriza omulembe omuggya, nga bamanyi amakulu gaakyo eri abantu baabwe bangi nnyo!
Bwe ntunula emabega ku myaka amakumi ana egy’olugendo lwange olw’Ekikristaayo, bulijjo nsanyuka nnyo olw’obwesigwa bwa Katonda gy’ndi. Antutte ku nsozi empanvu nnyingi awamu naye, era yankozesa mu buweereza bwe sandirootedde bwe nnali omukkiriza omuto. Buli myaka kkumi gwabanga n’obuweereza bwagwo obw’enjawulo, kyennava neebuuza ekyasa eky’amakumi abiri mu kimu kye kyalinnina.
Mu myaka gya ’60s’, nnalina omukisa okuweereza abaserikale ba Ghurka mu Hong Kong; mu ’70s’, Mukama yatukozesa mu ekyo abangi kye bajja okuyita ‘okuzuukusibwa’ (revival) mu bavubuka b’e Bridgend, mu Wales; mu ’80s’ nnayigiriza mu Jewish Academy mu Toronto, nga nnina omukisa omulungi ennyo okubuulira Enjiri abayizi ne Rabbi Saknovich; mu ’90s’, nnali ku kyombo M/V Anastasis nga nnina essanyu ery’enjawulo ery’okukubiriza enkuŋŋaana z’abasumba (pastors’ conferences) mu Afirika ey’Ebugwanjuba, na ddala mu Sierra Leone. Bino byonna byali ‘ntikko za nsozi’ mu lusozi oluwanvu. ’00s’ ez’omulembe omuggya zandireese ki?
Mu 2000, nnali mu buweereza obuggya obwatandikibwawo Ade Ajala, mukwano gwange omwagalwa okuva mu Nigeria eyali kati asumba ekkanisa mu Denver, Colorado, mu Amerika. Bwatuumibwa “Hands On” era bwalina ekigendererwa okusimba amakanisa mu Nigeria.
Nze nnali ntekwa okukola enteekateeka y’okuyigiriza ey’obuweereza buno, bwe ntyo ne mmala wiiki ntono mu Denver nga nkola ku bumu ku buno. Ku lukyala lwange olwokubiri mu 2001, nnayitibwa okuyingira mu bakozi b’e YWAM base mu Colorado Springs nga omusumba w’ekifo (base pastor). Kino kyalabika ng’omukisa omulungi ennyo naye, bwe nnalowooza ku bino byonna ebyandivuddemu, ne ntegeera nti ebirooto by’abakulembeze abo tebyali bya mazima, era nga nnina akakwakkulizo mu mwoyo gwange, ne ngaana okuyitibwa. Tekyayinzika n’akatono okuddukanya obuweereza buno bwombi mu kiseera kye kimu.
Eky’ennaku, ebirooto bya “Hands On” nabyo tebyatuukirira, wadde nga Ade akyalina ekkanisa ennamu mu Denver. Enkyala endala ez’e Baja California ne Brazil zajja mu myaka ebiri egyaddirira, buli emu ng’egumya nga bwe zaali enkyala zange ezaakulembera.
Naye ekintu ekyasingira ddala mu 2001, kyali olugendo olwokubiri mu India, ku mulundi guno mu Chennai mu bukiikaddyo, okuweereza mu YWAM base endala. Lowooza ku kwewuunya kwange bwe nnasanga nti abayizi bataano mu ssomero baava ku Vancouver Island, ate nga tebeemanyanga nga tebannajja! Nnakwatibwako nnyo abayizi Abayindi, abamu okuva mu mpya ez’ekitiibwa ekya waggulu (high caste) n’abalala okuva mu mpya eza wansi (low caste), abaatuula ne bassaawamu ne bassekimu wamu.
Omuwala omu omuto baali bamuteeseeko omuwendo ku mutwe gwe olw’okukyuka okudda eri Kristo ng’ava mu bulombolombo obw’obu-Hindu obw’omu maka ge. Omusaalaba gwa Yesu bulijjo gusoomooza ebiziyiza eby’obuwangwa ebibi ng’ebyo. Nnakwatibwako n’okusingawo olw’okuyimba okugenderako (harmonic) okw’abavubuka Abayindi abamu, bwe ntyo ne mbabuuza gye baayigira okuyimba bwe batyo – kyali kumpi kuwulikika ng’abantu b’e Wales! Ne bangamba nti baava mu Nagaland mu bukiikakkono, era nti abakkiriza ab’eyo baayigirizibwa okuyimba bwe batyo ababaka b’enjiri Abapuratesitanti Abawelsi (Welsh Presbyterian missionaries) abaabaleetera Enjiri oluvannyuma lw’okuzuukusibwa okwa Wales okwa 1904/5.
Nnaweereza mu masomero ga YWAM abiri ag’enjawulo mu kiseera ky’olukyala lwange olwa wiiki ssatu, nnayogera n’abakulembeze ba YWAM mu ssemunali eri ku St Thomas’ Hill, ekifo omutume Toomasi we yattirwa olw’okukkiriza, nnakyalira ebitundu eby’obwavu ennyo (slum) gye bakolera nnyo, era nnafuna omukisa okukyalira n’okumala akaseera katono e Ebenezer Home. Amaka gano ag’abaana abatalina bazadde ge gamu ku ago Martin, muganda wa Anne, g’awagira n’okwenyumiriza, era gakulemberwa omusajja omulungi Pastor VeeJay.
Abaana abato nga 100 baankuŋŋaanirako nga bagezaako Olungereza lwabwe olutono, ne bampa essanyu lingi. Nnazannya nabo cricket naye ssaabakwatako. Ekintu ekimu ekitaampa ssanyu lingi kyali emmere eya buli lunaku ey’omuceere n’omusalaawo gwa curry. Njagala curry naye guno gwali ‘gwokya nnyo’ – ate olw’okuba nnalabulwa obutanywa mazzi ga wano, bulijjo gwaweebwanga ne Coca Cola, ekitali kirungi ku curry!
Mu makanisa mwe nnayogerera mwalimu Maranatha, ekkanisa ey’abantu Abatamil. Omusumba w’eno yali musajja mulungi naye nga alina ebyafaayo. Yali agezezzaako emirundi ebiri okwetta olw’okuba mukyala we n’oluvannyuma mutabani we omukulu baali balwadde kookolo era nga bombi baaweebwa akaseera katono okuba abalamu. Buli mulundi teyayinza kutuukiriza kye yali ayagala, ng’asangibwa baliraanwa nga tannamaliriza kye yali agezaako. Olw’okuwona okwo okw’akatono, yakyuka n’adda eri Kristo ng’ava mu bu-Hindu bwe, ng’akaaba ng’ayagala okulaba oba Mukama ayinza okumuyamba. Mukama teyamulokola kyokka wabula ne mukyala we ne mutabani we bombi baawona kookolo waabwe. Yatandika okuggulawo amakanisa buli gy’ayinza, mu bantu abo be yali akulembera eri Mukama, era mu kiseera kye nnaliyo, yali atandiseewo amakanisa agasukka mu kkumi. Mutabani we omukulu kati yali muvangeri mu India ey’obukiikaddyo, ate mutabani we omuto ye yali omuvvuunuzi wange. Ku nkomerero y’obubaka bwange obwali ku The Upper Room, nnakola okuyita, abantu abamu ne baddamu. Awo omusumba n’ayimirira okwogera eri abantu be.
Abakazi nga munaana n’abasajja kkumi ne bayimirira ne bajja mu maaso. Nnabuuza omuvvuunuzi wange kitaawe kye yali agambye n’ensonga lwaki abantu bano bazze mu maaso, n’anziramu nti, “Kitange agambye nti kiseera baleke okuba abasagaasagana, nga banyeenyeenya wakati wa bakatonda baabwe Abahindu ne Kristo. Kaakati lwe lunaku lwe basaana okusalawo gwe banaaweereza.” “Bano bonna bazze mu maaso okwewaayo eri Yesu Kristo nga Mukama waabwe era Omulokozi waabwe.” Omutima gwange ne gubuuka olw’essanyu olw’omukisa okwogerera mu kkanisa ng’eyo.
Mu Novemba 2001, nnafuna okuyitibwa okwogerera mu University of Victoria Intervarsity Christian Fellowship (IVCF) ku Lwakutaano akawungeezi. Nnatuuka ku ssaawa naye eyantyaba, omukozi, yansanga n’ensonyi kubanga abayizi baali bayise omuyizi omulala okuva mu koleji endala okuweereza akawungeezi ako. “Mmusabye yeekugire ku ddakiika abiri,” omukozi bwe yagamba, “olyoke ofune ekiseera kimala obubaka bwo.” Nnamukakasa nti kyandisinze aleke omuyizi omwogezi ayogere ky’ayagala okwogera, era nti tekyandinkwaseeko n’akatono nti nze ssaali ŋŋenda kwogera akawungeezi ako. Nnandisanyuse okuwuliriza omuvubuka oyo.
Nga bwe kyandibadde, olw’ekyo, nnayitibwa okukomawo oluvannyuma lwa kaseera katono, nga guno gwe gwasooka ku kuyitibwa okungi bwe kutyo okwogerera ekibiina ky’abayizi ekyo eky’ekitalo.
Ne wagoberera okuyitibwa okwogerera ku mbaga za Ssekukkulu eza IVCF, emyaka ena mu egy’omukaaga egyaddirira. Neebuuza oba nnandifunye ekisa ekifaanana bwe kityo mu bayizi abo singa nnali nkakatidde okwogera akawungeezi ako akasooka aka Lwakutaano! Ssaategeera nti ekisa ng’ekyo kyandikoze kinene mu kutuuka kwange ku ntikko y’olusozi Katonda gye yali antegekedde mu myaka kino ekkumi!