Essuula 26 · eddakiika 2 ez’okusoma · eddakiika 2 ez’okuwuliriza
Olunaku 25 — Zaakayo Alinnya Omuti
“Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, ‘Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.’”
— Lukka 19:5
“Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.”
— Lukka 19:10
Zaakayo yali mukulu w’abawooza mu kibuga Yeriko. Yakoleranga Abaruumi, abafuzi abagwira Abayudaaya be baali bakyawa ennyo. Era ng’abawooza abalala bangi, yabbanga abantu: yabasoloozangako ensimbi ezisukkiridde, n’azeetwalira. Yali mugagga nnyo, era nga tebamwagala n’akatono.
Lumu Yesu n’ayita mu Yeriko. Ebibiina by’abantu ne bijjula ku mabbali g’enguudo. Zaakayo yali ayagala okulaba Yesu, naye waaliwo obuzibu: yali mumpi, era tewaali yandikkirizza mukumpanya wa kibuga okwesogga okutuuka mu maaso.
Kyeyava akola ekintu ekitasaanira musajja mugagga. Yadduka n’abeesooka, n’alinnya omuti omusukamooli!
Yesu bwe yatuuka mu kifo ekyo, n’ayimirira n’atunula waggulu. Mu bantu bonna abaali mu kibiina ekyo, Yesu yayogera naye. “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.”
Yesu yali amanyi erinnya lye! Era mu bantu bonna ab’omu kibuga, Yesu yasalawo okugenda mu nnyumba y’omusajja eyali asinga okukyayibwa.
Ekibiina ne kyemulugunya: “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.” Naye Zaakayo n’akka mangu n’ayaniriza Yesu n’essanyu.
Waliwo ekyabaawo ku Zaakayo olunaku olwo. Okubeera ne Yesu kwamukyusa. N’ayimirira n’agamba nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.” Tewali yamugamba kukola bw’atyo. Yesu bwe yayingira mu mutima gwe, omutima gwe ogw’omululu ne gufuuka omutima ogugaba.
Yesu n’agamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno.” Oluvannyuma n’annyonnyola lwaki yajja ku nsi: “Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.”
Eyo ye nsonga yonna Yesu gye yajjira. Teyajjira bantu abalowooza nti buli kimu bakitegese bulungi, wabula yajjira abaabula. Yajjira abakumpanya, abalimba, n’abantu abalala bonna be baggwaamu essuubi. Yajjira abantu nga Zaakayo, n’abantu nga ggwe nange.
Tewali muntu yabula nnyo Yesu n’atasobola kumutuukako. Amanyi erinnya lyo, era ayagala okujja mu nnyumba yo leero.
Kirowoozeeko: Lwaki olowooza Yesu yasalawo okugenda mu nnyumba ya Zaakayo, ate nga buli muntu yali tamwagala?
Gezaako kino: Zaakayo yatereeza ensonga n’abantu be yali alumizza. Waliwo ekintu ky’olina okutereeza n’omuntu? Kikole wiiki eno.
Yesu omwagalwa, weebale okujja okunoonya n’okulokola abaabula. Weebale nti omanyi erinnya lyange era oyagala okubeera nange. Kyusa omutima gwange nga bwe wakyusa omutima gwa Zaakayo. Nnyamba okutereeza ensonga n’abantu be nnalumya. Mu linnya lyo, Amiina.
Essuula 26 ewedde
Olunaku 25 — Zaakayo Alinnya Omuti