Essuula 24 · eddakiika 2 ez’okusoma · eddakiika 3 ez’okuwuliriza
Olunaku 23 — Omwana Eyadduka Awaka
“Bw’atyo n’asitula n’addayo ewa kitaawe. Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja, n’amusaasira nnyo. Kitaawe ng’ajjudde amaziga n’amusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.”
— Lukka 15:20
Oluvannyuma lw’olugero lw’endiga eyabula, Yesu yagera olugero olulala, ku taata ne batabani be ababiri.
Omwana omuto yali akooye okubeera awaka. N’agenda eri kitaawe n’amugamba nti, “Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.” Mu bigambo ebirala, Njagala omugabo gwange ku bugagga bwo kaakano. Saagala kulinda okutuusa lw’olifa. Ebyo byali bigambo bya kujooga era ebirumya ennyo.
Naye kitaawe n’amuwa ssente. Omwana n’asibako ebintu bye byonna, n’agenda mu nsi ey’ewala, n’amalawo buli ssente “mu binyumu.” Embaga, okwesanyusa, na buli kye yayagalanga.
Awo ssente ne ziggwaawo. Mu kiseera kye kimu, enjala nnyingi n’egwa mu nsi omwo, emmere n’ebula. Omwana yali mu bwetaavu bungi nnyo n’akkiriza omulimu gw’okuliisa embizzi, era yali alumwa enjala nnyo ne kiba nti n’emmere y’embizzi yali emusikiriza.
Ku nkomerero, “yeddamu.” N’alowooza nti, Abapakasi ba kitange bafuna emmere nnyingi, naye nze ndi wano nfiira enjala! Nnaddayo eka mugambe nti, “Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go, era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ng’abapakasi bo.”
Bw’atyo n’atandika olugendo oluwanvu okudda eka. Era kino kye kitundu ky’olugero ekisinga okwewuunyisa. “Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja.” Kitaawe ateekwa okuba nga yali atunuulira ekkubo buli lunaku, ng’asuubira nti mutabani we ajja kudda eka.
Era bwe yamulaba, kitaawe yadduka okumusisinkana — bw’atyo bwe kiwandiikiddwa mu Luyonaani, olulimi Lukka lwe yawandiikamu. Mu biseera ebyo, abasajja abakulu tebaddukanga. Tekyali kya kitiibwa. Naye kitaawe ono teyafaayo. N’addukira mutabani we, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera, omwana nga tannamala na kwogera bye yali ategese.
Awo kitaawe n’afumba embaga! Mutabani we n’amuwa ekkanzu esinga obulungi, empeta n’engatto empya. “Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.”
Yesu yali atubuulira Katonda bw’ali. Ne bw’oba nga wabula wala nnyo, ne bw’oba nga wakola ki, Katonda atunuulira ekkubo ng’akulindirira. Bw’okyuka n’odda gy’ali, takusaba kusooka kukola kintu kyonna okusaanira okudda. Adduka okukusisinkana.
Kirowoozeeko: Omwana yali asuubira okuyisibwa ng’omupakasi, naye kitaawe n’amwaniriza ng’omwana we. Ekyo kikubuulira ki ku Katonda?
Gezaako kino: Bw’oba nga waliwo ky’okoze ky’obadde okweka Katonda, kimubuulire leero. Adduka okujja okukusisinkana.
Kitaffe omwagalwa, weebale nti ofaanana nga taata ali mu lugero lwa Yesu. Weebale nti ne bwe mbula wala, ontunuulira era odduka okunnyaniriza eka. Nsonyiwa olw’ebiseera bwe nnagenda mu kkubo lyange. Weebale okunjagala. Mu linnya lya Yesu, Amiina.
Essuula 24 ewedde
Olunaku 23 — Omwana Eyadduka Awaka