Essuula 12 · eddakiika 2 ez’okusoma
Essaala ey'Obulokozi
Obukristaayo si ddiini; kwe kutambulira mu bulamu obw'ekika kya Katonda.
Katonda yayagala ensi nnyo n'okuwaayo n'awaayo Omwana we, Yesu Kristo, okufiirira buli muntu. Lwaki? Nze naawe tuleme kuzikirira wabula tube n'obulamu obutaggwaawo! Nga kya kitalo! Nnina obulamu obutaggwaawo, era naawe bw'otyo bw'oba wazaalibwa omulundi ogwokubiri. Bw'oba tonnazaalibwa mulundi gwakubiri, akaseera kano ke kakisa ko. Ojja kuba n'obulamu obutaggwaawo bw'okkiriza Yesu Kristo n'omutima gwo era n'omwatula okuba Mukama w'obulamu bwo!
“Naye wagambye nti Yesu Kristo yafiirira buli muntu, lwaki ate ogamba nti abazaalibwa omulundi ogwokubiri bokka be balina obulamu obutaggwaawo?” Oyinza okubuuza. Nnaasooka kuwa kyakulabirako: omukwano gwo akugamba nti akuwandiikidde ceeke. Nga bwe kimanyiddwa, ensimbi ziba zizo. Naye bw'otogenda mu bbanka kuggyayo nsimbi zo, wabula n'osuula ceeke yo, tojja kufuna nsimbi ezo, newaakubadde nga baagikuwandiikira. Bwe kityo bwe kiri n'obulamu obutaggwaawo. Mukama waffe, Yesu Kristo, yafiirira ensi yonna. Naye obulamu obutaggwaawo buweebwa abo abakkiriza Mukama waffe Yesu ng'Omwana wa Katonda omulamu, nga bakkiriza nti yajja, n'afa, n'azuukizibwa, era nga mulamu leero. Bw'omanya, n'okkiriza, era n'oyatula nti Yesu Kristo ye Mukama w'obulamu bwo, obulamu obutaggwaawo buteekebwa mu mwoyo gwo amangwago. Bwe butyo obulamu obutaggwaawo bwe bufunibwa. Mukama atenderezebwe!
Kaakano wandyagadde okufuna obulamu buno obutaggwaawo, obulamu obw'ekika kya Katonda? Nkuyita okufuula Yesu Kristo Mukama w'obulamu bwo, bw'oba tonnakikola. Nkusaba okkirize era osabe bw'oti: “Ayi Mukama Katonda, nzikiriza n'omutima gwange gwonna mu Yesu Kristo, Omwana wa Katonda omulamu. Nzikiriza nti yanfiirira era Katonda n'amuzuukiza mu bafu. Nzikiriza nti mulamu leero. Njatula n'akamwa kange nti Yesu Kristo ye Mukama w'obulamu bwange okuva leero. Mu ye era mu Linnya lye, nnina obulamu obutaggwaawo; nzaaliddwa omulundi ogwokubiri. Weebale, Mukama, olw'okulokola emmeeme yange! Kaakano ndi mwana wa Katonda. Aleruya!”
Kuulika! Kaakano oli mwana wa Katonda, eyazaalibwa Ekigambo kya Katonda. Oli kitonde kiggya ekituukiridde era ekituukirivu kubanga Kristo Mukama kaakano abeera mu ggwe, era akufudde obutuukirivu bwe. Teweetaaga kukiwulira wabula kkiriza nti kaakano oli muntu mulala, omuwanguzi ddala, era kaakano osobola okusalawo mu magezi agasingira ddala. Tewali kikulemerera kaakano! Tandika okusoma Bayibuli era oleke Katonda ayogere naawe era akuluŋŋamye mu kwagala kwe okutuukiridde.
Katonda akuwe omukisa!
ENKOMERERO