Essuula 42 · eddakiika 1 ez’okusoma · eddakiika 1 ez’okuwuliriza
Entegeka y’abaweereza mu Kkanisa
Abatume baatubuulira Enjiri nga bagiweereddwa Mukama waffe Yesu Kristo; Yesu Kristo [naye yagiweebwa] Katonda. Kale Kristo yatumibwa Katonda, n’abatume baatumibwa Kristo. Okulondebwa okwo kwombi, kwakolebwa mu ntegeka, nga Katonda bw’ayagala. Kale bwe baamala okuweebwa ebiragiro byabwe, era nga bakakasiddwa ddala olw’okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era nga banywezeddwa mu kigambo kya Katonda, n’obukakafu obujjuvu obw’Omwoyo Omutukuvu, baagenda nga balangirira nti obwakabaka bwa Katonda busembedde. Era bwe batyo nga babuulira mu nsi ne mu bibuga, baalonda ebibala ebibereberye [eby’emirimu gyabwe], bwe baamala okubakebera mu Mwoyo, okubeera abalabirizi n’abadyakoni b’abo abaali bagenda okukkiriza oluvannyuma. So kino tekyali kipya, kubanga mu mirembe mingi emabega kyawandiikibwa ku balabirizi n’abadyakoni. Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba bw’ati mu kifo ekimu nti, “Ndironda abalabirizi baabwe mu butuukirivu, n’abadyakoni baabwe mu kukkiriza.”