Essuula 23 · eddakiika 1 ez’okusoma · eddakiika 1 ez’okuwuliriza
Mubeere bawombeefu, era mukkirize nti Kristo alikomawo
Kitaffe ow’okusaasira kwonna era omukozi w’ebirungi alina omutima [ogw’okusaasira] eri abo abamutya, era mu kisa n’okwagala agabira ebirabo bye abo abajja gy’ali n’omutima ogutaliimu bukuusa. Kale tuleme okubeera n’emitima ebiri; so emmeeme zaffe zireme okwegulumiza olw’ebirabo bye ebikulu ennyo era eby’ekitiibwa. Kibe wala naffe ekyo ekyawandiikibwa nti, “Bannaku abo ab’emitima ebiri, era ab’omutima ogubuusabuusa; aboogera nti, Bino twabiwulira ne mu biseera bya bajjajjaffe; naye, laba, tukaddiye, era tewali na kimu ku byo ekitutuuseeko.” Mmwe abasirusiru! mwegeraageranye n’omuti: mutwale [ng’ekyokulabirako] omuzabbibu. Okusooka, gukunkumula ebikoola byagwo, oluvannyuma ne gutojjera, ate ne gussaako ebikoola, n’oluvannyuma ne gumulisa; awo ne wajja ezabbibu ezikaawa, n’oluvannyuma ne wajja ekibala ekyengedde. Mulaba nga mu kaseera katono ekibala ky’omuti bwe kituuka okwengera. Mazima ddala, mangu era nga tebamanyiridde okwagala kwe kulituukirizibwa, nga n’Ekyawandiikibwa bwe kiwa obujulirwa nti, “Alijja mangu, so talirwa;” era nti, “Mukama alijja mu yeekaalu ye mangu, Omutukuvu, gwe mulindirira.”