Essuula 17 · eddakiika 3 ez’okusoma · eddakiika 4 ez’okuwuliriza
Obwetaavu bw’Okweyoleka kw’Amaanyi ga Katonda
Ebikolwa by’Abatume 4:29—31 Kikkirizibwa okusaba bwe tutyo ne kaakano, okusaba Mukama nti, “owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo, golola omukono gwo owonye” (R.V.)? Ka twekenneenye ekibuuzo kino.
Ekigambo kya Katonda tekisanga mu nnaku zaffe buzibu bungi nga bwe kyabusanga edda, era obwetaavu bwa leero tebunyigiriza kyenkanyi? Ka twefumiitirize abatume nga bali wakati mu Yerusaalemi n’obutakkiriza bwakyo; ku ludda olumu abakulembeze b’abantu n’okutiisatiisa kwabwe; ku ludda olulala, ekibiina ky’abantu abazibe b’amaaso nga bagaana okukkiriza Oyo Eyakomererwa. Kaakano ensi tekyalwanyisa Kkanisa mu lwatu nga edda, kubanga tekyagitya; naye ebigambo byayo eby’okuwaanawaana bya kutiibwa okusinga obukyayi bwayo. Obukuusa oluusi bubeera bubi okusinga obukambwe. Era Obukristaayo obw’okungulu obwokka, obwebase mu tulo tw’obutafaayo, tebuzibu kutuukirirwako nga Obuyudaaya obwawakanyanga mu lwatu? Abaweereza ba Katonda ne mu kiseera kino beetaaga, Ekigambo kiryoke kibuulirwe n’obuvumu bwonna, amaanyi ga Katonda okweyolekera ddala mu bo.
Obuyambi bwa Katonda tebwetaagisa kaakano nga bwe bwali edda? Abatume baali bamanyi bulungi nti si bukugu bwa kwogera mu kubuulira kwabwe bwe bwawangulisa amazima, naye baali bamanyi nga kyetaagisa Omwoyo Omutukuvu okulaga okubeerawo kwe mu byamagero. Kyali kyetaagisa Katonda omulamu okugolola omukono gwe, wabeewo okuwonya, ebyamagero n’obubonero mu linnya ly’Omwana we omutukuvu Yesu. Mu ngeri eyo yokka abaweereza be mwe baasanyukira, era, nga banywezeddwa okubeerawo kwe, ne basobola okwogera Ekigambo kye n’obuvumu n’okuyigiriza ensi okutya erinnya lye.
Ebisuubizo bya Katonda tebitukwatako naffe? Abatume beesiga ebigambo bino Mukama bye yayogera nga tannalinnya mu ggulu: “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna.., era obubonero buno bunaagobereranga abo abakkiriza.., banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya” (Makko 16:15, 17, 18). Ekiragiro kino kiraga omulimu Katonda gwe yayitira Ekkanisa; n’ekisuubizo ekikiddirira kitulaga ebyokulwanyisa byayo, era kitukakasa nti Mukama akolera wamu nayo. Olw’okuba abatume beesiga ekisuubizo kino, kyebaava basaba Mukama okubawa obukakafu buno obw’okubeerawo kwe. Baali bajjuziddwa Omwoyo Omutukuvu ku Lunaku lwa Pentekoote, naye baali bakyetaaga obubonero obusukkulumye ku butonde amaanyi ge bye gakola. Ekisuubizo kye kimu kyaffe naffe, kubanga ekiragiro eky’okubuulira Enjiri tekiyinza kwawulwa ku kisuubizo ky’okuwonya kwa Katonda ekikiwerekera. Tewali wonna mu Bayibuli we kyogerwa nti ekisuubizo kino tekyali kya biseera ebyali bigenda okujja. Mu mirembe gyonna abantu ba Katonda beetaaga nnyo okumanya nti Mukama ali wamu nabo, n’okuba n’obukakafu bwakyo obutayinza kuwakanyizibwa. N’olwekyo ekisuubizo kino kyaffe; ka tusabe kituukirizibwe.
Tusaanidde okwesiga ekisa kye kimu? Tusoma mu Bikolwa by’Abatume nti abatume bwe baamala okusaba, “bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.” “Abatume ne bakola ebyamagero bingi mu bantu... Abakkiriza bangi abasajja n’abakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe” (Ebikolwa by’Abatume 4:31; 5:12—15). Ayi, essanyu ki n’amaanyi amaggya ki abantu ba Katonda bye bandifunye leero singa Mukama addamu okugolola omukono gwe bw’atyo! Abakozi bameka abakooye era abaggweemu amaanyi abanakuwala olw’obutalaba bibala bingi, n’emikisa mingi ku mirimu gyabwe! Obulamu ki obwandiyingidde mu kukkiriza kwabwe singa obubonero obw’engeri eyo bulabika okubakakasa nti Katonda ali nabo! Bangi abatafaayo bandireeteddwa okufumiitiriza, ababuusabuusa abatali omu bandizzeemu obwesige, n’abatakkiriza bonna bandisirisiddwa. N’omukaafiiri omunaku! Nga yandizuukuse singa alaba mu bikolwa ekyo ebigambo kye bitaamusobozesa kukwata, singa awalirizibwa okukkiriza nti Katonda w’Omukristaayo ye Katonda omulamu, Katonda akola eby’amagero, Katonda ow’okwagala awa omukisa!
Zuukuka, zuukuka, oyambale amaanyi go, ggwe Kkanisa ya Kristo! Newaakubadde ng’olw’obutali bwesigwa bwo wafiirwa essanyu ery’okulaba omukono gwa Mukama nga gugoloddwa okuwonya wamu n’okubuulira Ekigambo, Mukama mwetegefu okuddamu okukuwa ekisa kino. Kkiriza nti obutakkiriza bwo bwe bukuggyeko ekisa kino okumala ebbanga eddene bwe lityo, osabe okusonyiyibwa. Weeyambaze amaanyi g’okusaba.
“Zuukuka, zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda. Kozesa amaanyi go otuyambe. Gakozese nga edda” (Isaaya 51:9).
Essuula 17 ewedde
Obwetaavu bw’Okweyoleka kw’Amaanyi ga Katonda