Essuula 3 · eddakiika 13 ez’okusoma · eddakiika 17 ez’okuwuliriza
Okwawulibwa ku lw’Omwoyo Omutukuvu
OKWAWULIRWA OMWOYO OMUTUKUVU
“Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, ‘Omuddugavu’ ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni . . . ne Sawulo.
“Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, ‘Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.’
“Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda. Awo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya” (Ebikolwa by’Abatume 13:1-4).
Mu byafaayo by’ekyawandiikibwa kyaffe tujja kusangamu ebirowoozo eby’omuwendo ebinaatuluŋŋamya okutegeera Katonda ky’ayagala tukole, ne ky’ayagala okutukolera. Ekyokuyiga ekikulu mu nnyiriri ze tusomye kye kino: Omwoyo Omutukuvu ye mukulembeze w’omulimu gwa Katonda ku nsi. Era bwe tuba ab’okukolera Katonda mu ngeri entuufu, era Katonda bw’aba ow’okuwa omukisa omulimu gwaffe, kye tulina okukola kwe kulaba nga tuli mu nkolagana entuufu n’Omwoyo Omutukuvu, nga buli lunaku tumuwa ekifo eky’ekitiibwa ekimugwanira, era nga mu mulimu gwaffe gwonna, n’ekisinga, mu bulamu bwaffe obw’omunda obw’ekyama, Omwoyo Omutukuvu buli kiseera y’abeera mu kifo ekisooka. Ka mbalage ebimu ku birowoozo eby’omuwendo ekitundu kino bye kituleetera.
Ekisooka, tulaba nti Katonda alina enteekateeka ze ku bwakabaka bwe.
Ekkanisa ye mu Antiyokiya yali emaze okunywera. Katonda yalina enteekateeka n’ebigendererwa ebimu ku Asiya, ne ku Bulaaya. Ye yabiteekateeka; byali bibye, era n’abimanyisa abaweereza be.
Omuduumizi waffe omukulu y’ategeka buli lutalo, era abagenerali be n’abaserikale abakulu tebamanya bulijjo nteekateeka ze ennene. Emirundi mingi bafuna ebiragiro ebisibe, era balina okumulindirira abawe by’abalagira. Katonda ali mu ggulu alina by’ayagala, era alina okwagala kwe, ku buli mulimu ogusaanidde okukolebwa, ne ku ngeri gye gulina okukolebwamu. Alina omukisa omuntu ayingira mu byama bya Katonda n’akola wansi wa Katonda.
Emyaka egiyise, e Wellington mu South Africa, gye mbeera, twaggulawo Ettendekero ly’Obuminsani—ekizimbe ekitwalibwa eyo okuba ekinene era ekirungi. Ku kusaba kw’okuggulawo, omukulu w’ettendekero yayogera ekigambo kye sseerabirangako. Yagamba nti:
“Omwaka oguwedde twakuŋŋaanira wano okussaawo ejjinja ery’omusingi, era kiki ekyali kirabika wano? Kasasiro yekka, n’amayinja, n’amatoffaali, n’ebisigalira by’ekizimbe ekikadde ekyali kimenyeddwa. Awo we twassa ejjinja ery’omusingi, era bantu batono nnyo abaali bamanyi ekizimbe ekyali kigenda okuzimbibwa. Tewali yali akimanyi bulungi mu buli kantu okuggyako omuntu omu, eyakuba enteekateeka y’ekizimbe. Mu birowoozo bye byonna byali bitangaavu, era kontulakita, n’omuzimbi w’amayinja, n’omubazzi bwe baajjanga ku mulimu gwabwe, baafunanga ebiragiro okuva gy’ali, n’omupakasi asembayo wansi yalina okugondera ebiragiro, ekizimbe ne kigenda nga kiyimuka, era ekizimbe kino ekirungi kiwedde. Era bwe kityo,” bwe yayongerako, “ekizimbe kino kye tuggulawo leero kwe kussaawo bussa omusingi gw’omulimu, Katonda yekka gw’amanyi kye gulifuuka.”
Naye Katonda abakozi be n’enteekateeka ze abitegese bulungi, era ekifo kyaffe kwe kulindirira, Katonda atumanyise ku kwagala kwe ekyo kyokka ekyetaagisa buli mulundi.
Ffe kye tulina kwe kuba abeesigwa mu kugondera, nga tutuukiriza ebiragiro bye. Katonda alina enteekateeka ku lw’Ekkanisa ye ku nsi. Naye woowe! emirundi mingi nnyo ffe tukola enteekateeka zaffe, ne tulowooza nti tumanyi ekisaanidde okukolebwa. Tusooka kusaba Katonda awe omukisa okufuba kwaffe okunafu, mu kifo ky’okugaanira ddala okugenda okuggyako nga Katonda atukulembedde. Katonda yateekateeka omulimu n’okugaziwa kw’obwakabaka bwe. Omwoyo Omutukuvu ye yakwasibwa omulimu ogwo—“omulimu gwe mbayitidde.” Kale Katonda atuyambe ffenna okutya okukwata ku “ssanduuko ya Katonda” okuggyako nga tukulemberwa Omwoyo Omutukuvu.
Awo ekirowoozo eky’okubiri —Katonda ayagala era asobola okubikkulira abaweereza be by’ayagala.
Weewaawo, Katonda yeebazibwe, obubaka bukyava mu ggulu! Nga bwe tusoma wano Omwoyo Omutukuvu kye yayogera, bw’atyo Omwoyo Omutukuvu akyayogera eri Ekkanisa ye n’abantu be. Mu nnaku zino ez’oluvannyuma emirundi mingi akikoze. Ajjidde abantu kinoomu, era olw’okuyigiriza kwe okw’obwakatonda abakulembedde okugenda mu nnimiro z’emirimu abalala ze baali batasobola kutegeera oba kusiima mu kusooka, ne mu makubo n’enkola ezitaasiimibwa bangi. Naye Omwoyo Omutukuvu akyayigiriza abantu be mu biseera byaffe. Katonda yeebazibwe, mu bibiina byaffe eby’obuminsani obw’ebweru, ne mu buminsani bwaffe obw’omunda mu ggwanga, ne mu ngeri z’emirimu nkumi na nkumi, okuluŋŋamya kw’Omwoyo Omutukuvu kumanyiddwa, naye (ffenna, ndowooza, tuli beetegefu okukkiriza) kumanyiddwa kitono nnyo. Tetunnayiga kimala okumulindirira, n’olwekyo tusaanidde okwogera mu maaso ga Katonda ekirangiriro eky’amaanyi: Ai Katonda, twagala okweyongera okukulindirira otulage by’oyagala.
Temusaba Katonda maanyi gokka. Abakristaayo bangi balina enteekateeka zaabwe ez’okukola, naye Katonda y’alina okuweereza amaanyi. Omuntu akola mu kwagala kwe ye, ate Katonda alina okuwa ekisa—eyo y’ensonga lwaki emirundi mingi Katonda awa ekisa kitono nnyo n’ebibala bitono nnyo. Naye ffenna ka tutwale ekifo kyaffe mu maaso ga Katonda twogere nti:
“Ekikolebwa mu kwagala kwa Katonda, amaanyi ga Katonda tegajja kukimma; ekikolebwa mu kwagala kwa Katonda kiteekwa okufuna omukisa gwa Katonda ogw’amaanyi.”
Kale ekyo kye tusooka okwegomba kibe okubikkulirwa okwagala kwa Katonda.
Bwe mumbuuza nti, Kyangu okufuna obubaka buno okuva mu ggulu, n’okubutegeera? Nsobola okubaddamu. Kyangu eri abo abali mu kussa ekimu okutuufu n’eggulu, era abamanyi amagezi ag’okulindirira Katonda mu kusaba.
Emirundi emeka gye tubuuza nti: Omuntu ayinza atya okumanya Katonda ky’ayagala? Era abantu bwe baba basobeddwa, baagala okusaba n’amaanyi mangi Katonda abaddemu amangu ddala. Naye Katonda asobola kubikkulira kwagala kwe mutima gwokka ogwetoowaze, omugonvu era ogwejjeemu byonna. Mu bibuzaabuza n’ebizibu eby’enjawulo, Katonda asobola kubikkulira kwagala kwe mutima gwokka ogwayiga okumugondera n’okumussaamu ekitiibwa n’obwesigwa mu bintu ebitono ne mu bulamu obwa buli lunaku.
Ekyo kintuusa ku kirowoozo eky’okusatu—Mwetegereze embeera y’omutima Omwoyo gw’abikkulira Katonda by’ayagala.
Kiki kye tusoma wano? Waaliwo abasajja abawerako abaali basinza Mukama nga basiiba, Omwoyo Omutukuvu n’ajja n’ayogera nabo. Abantu abamu kitundu kino bakitegeera nga bwe bandikitegedde ku kakiiko k’obuminsani mu biseera byaffe. Tulaba nga waliwo ennimiro enzigule, era tubadde n’obuminsani bwaffe mu nnimiro endala, era tugenda kweyongerayo mu nnimiro eyo. Ekyo tuba tukimaliridde kumpi ddala, ne tulyoka tukisabira. Naye embeera yali ya njawulo nnyo mu nnaku ezo ez’edda. Mbuusabuusa oba waliwo n’omu ku bo eyalowooza ku Bulaaya, kubanga oluvannyuma ne Pawulo yennyini yagezaako okuddayo mu Asiya, okutuusa okwolesebwa okw’ekiro lwe kwamuyita olw’okwagala kwa Katonda. Mutunuulire abasajja abo. Katonda yali akoze ebyamagero. Yali agaziyizza Ekkanisa n’etuuka mu Antiyokiya, era yali agiwadde omukisa omungi era omunene. Kaakano abasajja bano baali wano nga basinza Mukama, nga bamuweereza mu kusaba ne mu kusiiba. Nga baali bakakasa nnyo nti—“Byonna biteekwa okuva butereevu mu ggulu. Tuli mu kussa ekimu ne Mukama eyazuukira; tuteekwa okuba obumu naye obw’okumpi, era mu ngeri emu anaatumanyisa ky’ayagala.” Era baali awo, nga beejjeemu byonna, nga tebamanyi, nga tebalina kye basobola, nga basanyufu era nga bajaguza, naye nga beetoowazizza nnyo.
“Ai Mukama,” kirabika bwe baagamba, “tuli baweereza bo, era mu kusiiba ne mu kusaba tukulindirira. Kiki ky’oyagala tukole?”
Teyali bw’atyo ne Peetero? Yali waggulu ku kasolya k’ennyumba, ng’asiiba era ng’asaba, era teyalowooza n’akatono ku kwolesebwa n’ekiragiro eky’okugenda e Kayisaliya. Yali tamanyi mulimu gwe gwandibadde ki.
Mu mitima egyewaddeyo ddala eri Mukama Yesu, mu mitima egyeyawula ku nsi, era ne ku mikolo gy’eddiini egya bulijjo, era egyewaayo mu kusaba okw’amaanyi okutunuulira Mukama waabwe—mu mitima ng’egyo kwe kwagala kwa Katonda okw’omu ggulu mwe kunaalabikira.
Mumanyi nti ekigambo okusiiba kiddamu omulundi ogw’okubiri (mu lunyiriri olw’okusatu): “Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba.” Bwe musaba, mwagala okuyingira mu kisenge kyammwe, nga Yesu bwe yalagira, ne muggalawo oluggi. Muggalira ebweru emirimu, n’abantu, n’amasanyu, na buli kintu ekiyinza okuwugula ebirowoozo, ne mwagala okubeera mwekka ne Katonda. Naye mu ngeri emu, ensi ey’ebintu ebikwatibwako ebagoberera ne mu kifo ekyo. Mulina okulya. Abasajja bano baayagala okweggalira ebweru w’ebintu ebikwatibwako n’ebirabika, ne basiiba. Kye baalya kyali kimala bumazi kutuukiriza byetaago bya bulamu, era olw’okwegomba okw’amaanyi okw’emmeeme zaabwe, baalowooza okulaga mu kusiiba kwabwe mu maaso ga Katonda nti bayabulidde buli kintu eky’oku nsi. Ai, Katonda atuwe okwegomba okw’amaanyi bwe kutyo, okweyawula ku buli kintu, kubanga twagala okulindirira Katonda, Omwoyo Omutukuvu alyoke atubikkulire okwagala kwa Katonda okw’omukisa.
Ekirowoozo eky’okuna —Kaakano kwagala kwa Katonda ki nga Omwoyo Omutukuvu bw’akubikkula? Kuli mu bigambo bitono: Okwawulirwa Omwoyo Omutukuvu. Ekyo kye kikulu mu bubaka obuva mu ggulu.
“Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde. Omulimu gwange, era ngufaako, era nze nnalonda abasajja bano ne mbayita, era njagala mmwe abakiikirira Ekkanisa ya Kristo ku nsi mubanjawulire.”
Mutunuulire obubaka buno obw’omu ggulu mu njuyi zaabwo ebbiri. Abasajja baalina okwawulirwa Omwoyo Omutukuvu, era Ekkanisa ye yali ey’okukola omulimu guno ogw’okwawula. Omwoyo Omutukuvu yali asobola okwesiga abasajja bano okugukola n’omwoyo omutuufu. Baali awo nga babeera mu kussa ekimu n’eby’omu ggulu, era Omwoyo Omutukuvu yali asobola okubagamba nti, “Mukole omulimu ogw’okwawula abasajja bano.” Era abo be basajja Omwoyo Omutukuvu be yali ateeseteese, era yali asobola okubogerako nti, “Ka baawulibwe babe bange.”
Wano tutuuka ku kikolo kyennyini, ku bulamu bwennyini obw’ekyo abakozi Abakristaayo kye beetaaga. Ekibuuzo kiri nti: Kiki ekyetaagisa amaanyi ga Katonda gatukkireko n’obuyinza obusingawo, omukisa gwa Katonda gufukibwe mu bungi obusingawo mu bantu abo abaavu, ab’ennaku, n’aboonoonyi abazikirira be tukolamu? Era eky’okuddamu ekiva mu ggulu kiri nti:
“Njagala abantu abaawulirwa Omwoyo Omutukuvu.”
Ekyo kitegeeza ki? Mumanyi nti ku nsi waliwo emyoyo ebiri. Kristo bwe yali ayogera ku Mwoyo Omutukuvu, yagamba nti ye Mwoyo “ensi gwe teyinza kufuna” (Yokaana 14:17). Pawulo yagamba nti: “ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda” (1 Abakkolinso 2:12). Ekyo kye kyetaago ekikulu mu buli mukozi—omwoyo ow’ensi okufuluma, n’Omwoyo wa Katonda okuyingira okwefuga obulamu obw’omunda n’omuntu yenna.
Nkakasa nti waliwo abakozi abatera okukaabirira Katonda Omwoyo Omutukuvu abajjeko ng’Omwoyo ow’amaanyi olw’omulimu gwabwe, era bwe bawulira ekigera ekyo eky’amaanyi, ne bafuna omukisa, ne beebaza Katonda olw’ekyo. Naye Katonda ayagala ekisingawo era ekya waggulu okusingawo. Katonda ayagala tunoonye Omwoyo Omutukuvu ng’Omwoyo ow’amaanyi mu mitima gyaffe ne mu bulamu bwaffe, okuwangula okwerowoozaako n’okugoba ekibi, n’okukola mu ffe ekifaananyi kya Yesu eky’omukisa era ekirungi.
Waliwo enjawulo wakati w’amaanyi g’Omwoyo ng’ekirabo, n’amaanyi g’Omwoyo olw’ekisa eky’obulamu obutukuvu. Omuntu ayinza emirundi mingi okuba n’ekigera ky’amaanyi g’Omwoyo, naye bw’ataba na kigera kinene eky’Omwoyo ng’Omwoyo ow’ekisa n’obutukuvu, obulemu obwo bujja kweyoleka mu mulimu gwe. Ayinza okufuulibwa ekkubo abantu mwe bakyukira, naye taliyamba bantu kulinnya ku ddaala ery’obulamu obw’omwoyo erya waggulu, era bw’aliba avuddewo, omulimu gwe omungi guyinza naagwo okuggwaawo. Naye omuntu eyaawulirwa Omwoyo Omutukuvu ye muntu eyeewaayo okwogera nti:
“Kitaffe, Omwoyo Omutukuvu ka abeere n’obuyinza bwonna ku nze, mu maka gange, mu mbeera y’omutima gwange, mu buli kigambo eky’olulimi lwange, mu buli kirowoozo eky’omutima gwange, mu buli nneewulira gye nnina eri bantu bannange; Omwoyo Omutukuvu ka anfuge ddala yenna.”
Ekyo kye kibadde okwegomba n’endagaano y’omutima gwammwe ne Katonda wammwe—okuba omusajja oba omukazi eyaawulirwa era eyeewaayo eri Omwoyo Omutukuvu? Mbeegayiridde muwulirize eddoboozi ery’omu ggulu. “Munjawulire,” Omwoyo Omutukuvu bwe yagamba. Weewaawo, okwawulirwa Omwoyo Omutukuvu. Katonda akkirize Ekigambo kiyingire mu buziba bwennyini obw’obulamu bwaffe kitukebere, era bwe tuzuula nga tetunnava ddala mu nsi, Katonda bw’atubikkulira nti obulamu obw’okwerowoozaako, okwagala kwaffe ffekka, n’okwegulumiza bikyaliwo, ka twetoowaze mu maaso ge.
Omusajja, omukazi, muganda waffe, mwannyinaffe, oli mukozi eyaawulirwa Omwoyo Omutukuvu. Ekyo kya mazima? Ekyo kye kibadde okwegomba kwo? Ekyo kye kibadde okwewaayo kwo? Ekyo kye obadde osuubira olw’okukkiriza mu maanyi ga Mukama waffe Yesu eyazuukira era ow’obuyinza bwonna? Bwe kiba nga si bwe kityo, kuno kwe kuyita kw’okukkiriza, era kino kye kisumuluzo ky’omukisa—okwawulirwa Omwoyo Omutukuvu. Katonda awandiike ekigambo kino mu mitima gyaffe!
Nagamba nti Omwoyo Omutukuvu yayogera n’ekkanisa eyo ng’ekkanisa esobola okukola omulimu ogwo. Omwoyo Omutukuvu yabeesiga. Katonda akkirize ekkanisa zaffe, ebibiina byaffe eby’obuminsani, n’ebibiina by’abakozi baffe, abakulembeze baffe bonna, n’enkiiko, n’obukiiko bwonna bibeeremu abasajja n’abakazi abasaanira omulimu ogw’okwawulira Omwoyo Omutukuvu abakozi. Ekyo nakyo tusobola okukisaba Katonda.
Awo ne kiddako ekirowoozo kyange eky’okutaano, era kye kino—Okukolera awamu kuno okutukuvu n’Omwoyo Omutukuvu mu mulimu guno kufuuka kintu kye tumanyiiko mu mwoyo era kye tukolerako.
Abasajja abo, baakola ki? Baayawula Pawulo ne Balunabba, era oluvannyuma kiwandiikiddwa ku bombi nti bwe baatumibwa Omwoyo Omutukuvu, ne baserengeta e Serukiya. Ai, kussa kimu ki kuno! Omwoyo Omutukuvu mu ggulu ng’akola ekitundu ky’omulimu, n’abantu ku nsi nga bakola ekitundu ekirala. Abantu ku nsi bwe baamala okubassaako emikono, kiwandiikiddwa mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa nti baatumibwa Omwoyo Omutukuvu.
Era mulabe engeri okukolera awamu kuno gye kuyita okusaba okuggya n’okusiiba. Baali bamaze ekiseera nga basinza Mukama era nga basiiba, oboolyawo ennaku ezitali zimu; Omwoyo Omutukuvu n’ayogera, era balina okukola omulimu n’okuyingira mu kukolera awamu kuno, era amangu ago ne bakuŋŋaana okweyongera okusaba n’okusiiba. Ogwo gwe mwoyo gwe baagonderamu ekiragiro kya Mukama waabwe. Era ekyo kituyigiriza nti si mu ntandikwa yokka ey’omulimu gwaffe ogw’Ekikristaayo, naye ekiseera kyonna, twetaaga amaanyi gaffe okuba mu kusaba. Bwe wabaawo ekirowoozo kimu ku Kkanisa ya Kristo ekinzijira oluusi n’ennaku ey’amaanyi ennyo; bwe wabaawo ekirowoozo kimu ku bulamu bwange nze kennyini ekinkwasa ensonyi; bwe wabaawo ekirowoozo kimu kye mpulira nti Ekkanisa ya Kristo tennakikkiriza era tennakitegeera; bwe wabaawo ekirowoozo kimu ekindeetera okusaba Katonda nti: “Ai, tuyigirize olw’ekisa kyo, ebintu ebiggya”—kwe kuba amaanyi ag’ekitalo okusaba ge kwagendererwamu okuba nago mu bwakabaka. Tukukozesezza kitono nnyo.
Ffenna twasoma ebigambo bya Christian mu kitabo ekikulu ekya Bunyan, bwe yazuula nti yalina mu kifuba kye ekisumuluzo ekyandisumuludde ekkomera. Tulina ekisumuluzo ekiyinza okusumulula ekkomera ery’obutakkiriza Katonda n’ery’obukaafiiri. Naye, woowe! tufaayo nnyo ku mulimu gwaffe okusinga bwe tufaayo ku kusaba. Tukkiriza nnyo mu kwogera n’abantu okusinga bwe tukkiriza mu kwogera ne Katonda. Muyige ku basajja bano nti omulimu Omwoyo Omutukuvu gw’alagira guteekwa okutuyita mu kusiiba n’okusaba okuggya, mu kweyawula okuggya ku mwoyo n’amasanyu g’ensi, mu kwewonga okuggya eri Katonda n’eri okussa ekimu naye. Abasajja abo beewaayo eri okusiiba n’okusaba, era singa mu mulimu gwaffe gwonna ogw’Ekikristaayo ogwa bulijjo mwalimu okusaba okusingawo, wandibaddewo omukisa omungi okusingawo mu bulamu bwaffe obw’omunda. Singa twawulira, ne tukakasa, ne tutegeeza ensi nti amaanyi gaffe gokka gali mu kusigala buli ddakiika nga tukwatagana ne Kristo, buli ddakiika nga tuleka Katonda okukola mu ffe—singa ogwo gwe gwali omwoyo gwaffe, obulamu bwaffe tebwandibadde butukuvu okusingawo, olw’ekisa kya Katonda? Tebwandibaddemu bibala bingi okusingawo?
Kumpi simanyi kulabula mu Kigambo kya Katonda okusinga obuzito okwo kwe tusanga mu ssuula ey’okusatu ey’Abaggalatiya, Pawulo w’abuuliza nti:
“abaatandikira mu Mwoyo, kaakano mutuukirizibwa mu mubiri?” (Abaggalatiya 3:3).
Mutegeera ekyo kye kitegeeza? Akabi akatiisa mu mulimu gw’Ekikristaayo, nga bwe kiri mu bulamu obw’Ekikristaayo obutandikiddwa n’okusaba okungi, obutandikiddwa mu Mwoyo Omutukuvu, kwe kuba nti kiyinza mpolampola okuwugulibwa ne kidda ku makubo ag’omubiri; ekigambo ne kijja nti: “abaatandikira mu Mwoyo, kaakano mutuukirizibwa mu mubiri?” Mu kiseera kyaffe eky’olubereberye eky’okusoberwa n’obutaba na kye tusobola, twasaba nnyo Katonda, Katonda n’addamu era Katonda n’awa omukisa, enteekateeka yaffe n’etuukirira, n’ekibinja kyaffe eky’abakozi ne kigaziwa; naye mpolampola enteekateeka n’omulimu n’okwanguyiriza bitwefuze nnyo ne kiba nti amaanyi g’Omwoyo, mwe twatandikira bwe twali ekibinja ekitono, kumpi gabula. Ai, mbeegayiridde, mukyetegereze bulungi! Kwali kusaba kuggya n’okusiiba, kwali kusaba kungi n’okusiiba, ekibinja kino eky’abayigirizwa kwe kyatuukirizaamu ekiragiro ky’Omwoyo Omutukuvu, “Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka.” Ogwo gwe mulimu gwaffe ogusinga obukulu n’ogusinga omugaso. Omwoyo Omutukuvu ajja ng’okuddamu okusaba okw’okukkiriza.
Mumanyi nti Yesu eyagulumizibwa bwe yamala okulinnya ku ntebe ey’obwakabaka, okumala ennaku kkumi entebe y’ebigere by’entebe eyo ye yali ekifo abayigirizwa be abaali balindirira we baamukaabiririra. Era eryo lye tteeka ly’obwakabaka—Kabaka ku ntebe, abaweereza ku ntebe y’ebigere. Katonda atusange eyo obutasalako!
Awo ne kiddako ekirowoozo ekisembayo —Omukisa ogw’ekitalo nnyo ogujja Omwoyo Omutukuvu bw’akkirizibwa okukulembera n’okuluŋŋamya omulimu, era nga gukolebwa mu kumugondera!
Mumanyi ebyafaayo by’olugendo lw’obuminsani Balunabba ne Sawulo kwe baatumibwa. Mumanyi amaanyi agaali nabo. Omwoyo Omutukuvu ye yabatuma, ne bagenda nga bava mu kifo ekimu okudda mu kirala n’omukisa omungi. Omwoyo Omutukuvu ye yeeyongera okuba omukulembeze waabwe. Mujjukira engeri Omwoyo gye yaziyizaamu Pawulo okuddayo mu Asiya, n’amutwala e Bulaaya. Ai, omukisa ogwali ku kibinja ekyo ekitono eky’abasajja, ne ku buweereza bwabwe eri Mukama!
Mbeegayiridde, ka tuyige okukkiriza nti Katonda alina omukisa gye tuli. Omwoyo Omutukuvu, Katonda gwe yakwasa omulimu, ayitiddwa “omutuukiriza w’emirimu gy’Obusatu Obutukuvu.” Omwoyo Omutukuvu talina maanyi gokka, naye alina n’Omwoyo ow’okwagala. Abuutikidde ensi eno ey’ekizikiza ne buli kitundu ky’omulimu ekigirimu, era ayagala okuwa omukisa. Kale lwaki tewali mukisa musingawo? Wayinza okubaawo eky’okuddamu kimu kyokka. Tetuwadde Omwoyo Omutukuvu kitiibwa nga bwe twandikoze. Waliwo n’omu ayinza okugamba nti ekyo si kya mazima? Buli mutima ogulowooza teguli mwetegefu kukaaba nti: “Katonda nsonyiwa olw’obutawa Mwoyo Omutukuvu kitiibwa nga bwe nnandikoze, olw’okumunakuwaza, olw’okuleka okwerowoozaako n’omubiri n’okwagala kwange okukola awo Omwoyo Omutukuvu we yandiweereddwa ekitiibwa! Katonda ansonyiwe olw’okuleka okwerowoozaako n’omubiri n’okwagala okutwala ddala ekifo Katonda kye yayagala Omwoyo Omutukuvu abeere nakyo.”
Ai, ekibi kisinga obunene kye tumanyi! Tekyewuunyisa nti mu Kkanisa ya Kristo mulimu obunafu n’okulemererwa okungi bwe kutyo!
Essuula 3 ewedde
Okwawulibwa ku lw’Omwoyo Omutukuvu